Kiki Ekiri Emabega W’enkyukakyuka Enkambwe Bp. Banja ze Yalangiridde e Namirembe?

Omulabirizi w’e Namirembe, Moses Banja abaali obuweereza bwe butandise okukaawa, abalowooza okubeera abanene okusinga ye oba okusinga obulabirizi abasitukiddemu era bamutenda bukambwe. Wiiki ewedde, ono yagobye kkwaya ya Lutikko y’e Namirembe ebadde engundiivu n’asaba bammemba baayo bade ebbali n’abateekako n’olukiiko lubanoonyerezeeko. Omulabirizi Banja teyakomye okwo, era yasiguukuludde n’abamu ku baawule ababadde boogerwako ng’ab’amaanyi era abaazimba […]

Bp. Banja Ow’e Namirembe akoze Enkyukakyuka-Canon David Mpagi Abadde e Mukono Amuwadde Wofiisi Ennene

Oluvannyuma lw’okulondebwa ng’omulabirizi w’e Namirembe, wofiisi gy’abaddemu ekiseera, Omulabirizi w’e Namirembe, Kitaffe mu Katonda Moses Banja akozze enkyukakyuka mu baweereza ab’enjawulo. Okusinziira ku Bp. Banja, ekyukakyuka zino zaakutandika mu mwezi ogw’omunana (August) omwaka guno. Mu bakyusiddwa Rev. Canon Michael Ssentamu alondeddwa nga principal w’ettendekero ly’e Namugongo. Rev. Abel Sserwanja Meerewoma abadde omusumba w’obusumba bw’e Kireka akyusiddwa […]

Poliisi Ekutte Sandra Akola Obwa Malaaya e Kireka Asobezza ku Kalenzi ka P.5

Poliisi e Kireka mu munisipaali y’e Kira ekutte n’eggalira omukazi agambibwa okuba malaaya eyakkakkanye ku muyizi omulenzi owa P.5 n’amusobyako.  Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango ategeezezza nga poliisi bwe yakutte Sandra Lokot atemera mu gy’obukulu 28 omutuuze w’e Kireka Zone B ng’ono avunaanibwa kwekakaatika ku kalenzi ak’emyaka 15 egy’obukulu n’akakaka akaboozi ak’ekikulu. […]

error: Content is protected !!