Poliisi e Mukono eriko omusamize gw’etaasizza ku batuuze ababadde bataamye nga baagala kumutta oluvannyuma lw’okusangibwa n’ebitebeerezebwa okubeera emirambo gy’abantu musanvu.
Ivan Kaggwa ng’emirimu gye agikakkalabiza ku kyalo Katoogo y’akwatiddwa ku by’ekuusa ku kusaddaaka kw’omwana ow’omwaka ogumu n’emyezi esatu Shon Sserunkuuma mutabani wa Jackeline Namatovu ng’ono yabuzibwawo nga March 26, ku kyalo Buyuki mu muluka gw’e Katoogo mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi atwala ebitundu bya Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango, enkeera nga March 27, omuyizi w’essomero lya Katoogo Aim Junior School ow’emyaka esatu bwe yali agenda mu kaabuyonjo y’ekkanisa ya Katoogo Pentecostal Church okweyamba ye yasanga omusaayi n’adduka n’ategeeza ku musomesawe Irene Nafula.
Onyango agamba nti Nafula yeekubira enduulu eri abakulembeze b’ekyalo nabo abaatemya ku ba poliisi y’e Nama nga bwe baagenda okwekebejja nga balaba omussayi gulinganga ogw’omuntu kwe kuyita abapoliisi y’abazimya mwoto okuva e Mukono abaagenda ne basima ttooyi eno.
Onyango agamba nti bannyululayo ekuwuwudu ky’omwana Sserunkuuma nga tekiriiko mutwe, ebitundu by’enkyama n’eby’ebyenda nga byasaliddwamu mu lubuto nga birebeetera bweru.
Mu mbeera ey’okwewuunaganya kw’ani ayinza okuba emabega w’ekikolwa eky’obutemu kino, ate abatuuze baagudde ku Kaggwa ng’aliko ebisigalira by’abafu byazzenga asimula ewatategeerekeka n’abiziika ku kuggya kye ng’ono abatuuze bamusonzeemu ennwe nga bagamba nti alina okuba nga ye yasaddaaka n’omwana Sserunkuuma.
Mu kiseera kino, omusamize Kaggwa akuumirwa ku poliisi y’e Mukono ng’okunoonyereza ku musango guno bwe kugenda mu maaso sso ng’ekiwuduwudu ky’omwana Sserunkuuma poliisi yakitutte mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago okwongera okwekebejjebwa.
Poliisi egamba nti mu siteetimenti ya Namatovu maama wa Sserunkuuma, omwana yali naye ewaka ng’ayoza ngoye ku ssaawa nga ttaano ez’emisana wabula bwe waayita akaseera katono nga tamulabako.
Namatovu agamba nti yatandika okunoonya ewaka wonna ng’omwana tamulaba n’atemya ku baliraanwa ne basamba ensiko mu kyalo n’ebyalo ebirinanyeewo naye nga yonna taliiyo.
Abakulembeze ku kyalo okuli kkansala Paul Kawombe ne ssentebe w’eggombolola y’e Nama John Bosco Isabirye bavumiridde ebikolwa ekika kino ebibadde byaggwawo mu kitundu kyabwe ate okuba nga bizzeemu.
Wabula Isabirye asabye abatuuze okugira nga bakuumye obukkakkamu nga poliisi bw’egenda mu maaso n’okunoonyereza kwayo.
Disitulikiti y’e Mukono yali emanyiddwa nnyo mu bikolwa eby’okusaddaaka abaana kyokka oluvannyuma lw’abakulembeze n’ab’eby’okwerinda ssaako bannaddiini okuteekawo kaweefube ow’amaanyi erwanyisa abasamize abaali beenyigira mu bikolwa bino, emyaka gibadde gyekulunguludde nga waliwo akalembereza kyokka ate byandiba nga byagala kuddamu kusitula bulo.