Kitalo! Eyali Omwami wa Kabaka Ow’essaza Ly’e Kyaddondo Afudde!!!

  Eyali omwami wa Kabaka ow’essaza ly’e Kyaddondo, Kaggo Tofiri Malokweza Kivumbi afudde. Kaggo abadde mutuuze ku kyalo ky’e Nabweru. Amawulire g’okufa kw’eyali Kaggo gasaasaanyiziddwa meeya w’e Kawempe, Emmanuel Sserunjoji Oweddembe. Kaggo Tofiri afiiridde ku myaka 96. Ono yali musirikale wa Paapa mu Eklezia Katolika. Ssaabasajja Kabaka yasiima n’amuwa ejjinja ery’omuwendo ng’olw’obuweereza bwe obulungi eri Obwakabaka […]

Police Take to Court Thugs Who Disguised as Museveni’s Supporters, Robbed, Injured People in Kampala

Police have finished the investigations into the Kifeesi gangs who put on NRM yellow T-shirts, beaten and robbed people in Kampala on Saturday, the day President Museveni picked his nomination forms from the party headquarters in Kyaddondo. According to the Police spokesperson, Rusoke Kituuma, following the CCTV footage recorded on Saturday when these gangs terrorised […]

Okukuza Amazaalibwa ga Kabaka: Ab’e Kyaddondo Bakungaanye Okubaako Bye Bayiga

Bano bakungaanye ku nteekateeka ey’ekyoto kwe bagenda okuyigira ensonga ez’enjawulo kyokka ng’era baatandise dda n’okwokya emisito gy’ennyama. BYA TONNY EVANS NGABO | KYADDONDO | KYAGGWE TV | Ng’eggwanga liri mu keetereekerero ak’okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi ag’e 70 ag’ekitiibwa, bbo Bannakyaddondwa ensonga bagyongeddemu ebirungo. Bano bakungaanye ku nteekateeka ey’ekyoto kwe […]

Ab’e Kyaggwe, Buddu ne Kyaddondo Bakiise Embuga, Oluwalo Lwa Bukadde 35 Lwe Lutikkuddwa

  | KYAGGWE TV | MMENGO | Abaganda baagera nti “akiika embuga amanya ensonga.” Na bwe kityo, Bannakyaggwe abasibuka mu ssaza ly’e Kyaggwe, Bannabuddu abava e Buddu ne Bannakyaddondwa ab’e Kyaddondo baakiise embuga ku kitebe ekikulu eky’Obwakabaka bwa Buganda ku Bulange e Mmengo ne batwala oluwalo.  Bano bavuddemu omugatte gwa ssiringi za Uganda obukadde 35 […]

Ow’e Kyaddondo Asitukidde mu Mpaka Za Nnalulungi wa Buganda Ow’eby’obulambuzi

Munnakyaddondwa yanywedde akendo mu Bannalulungi okuva mu masaza ag’enjawulo mu mpaka ez’akamalirizo ezaabadde ku Hotel Africana ku Lwokutaano. Namale Kisha Ruth okuva mu ssaza lya Kabaka ery’e Kyaddondo ye yasitukidde mu kapyata w’emmotoka oluvannyuma lw’okuwangula empaka za Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda 2024. Namale eyeddira ekkobe yaddiriddwa Zalwango Miriam okuva mu ssaza ly’e Buddu ate Bisoboka […]

Omwami W’essaza Kaggo Alabudde Abazadde Okufaayo ennyo ku Baana

Bya Tonny Evans Ngabo Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaddondo, Kaggo Ssalongo Matovu Ahmed Magandaazi alabudde abazadde ku nkuza y’abaana gy’agamba nti y’ensibo y’ebizubu ebifumbekedde mu ggwanga. Kaggo okwogera bino yasinzidde Kirinya mu ggombolola ya Ssaabaddu-Kira bwe yabadde akulembeddemu emikolo gy’okutuuza omwami w’omuluka gwa Ssaaabagabo-Kirinya, Ssalongo David Ssekalega Ziriddamu n’asaba abazadde okukozesa ekiseera ky’oluwummula […]

error: Content is protected !!