Waliwo maama eyeekubidde enduulu ng’asaba kuyambibwa ng’entabwe eva ku musajja eyamusuulawo oluvannyuma lw’okumufunyisa olubuto emyaka 16 egiyise. Yudaaya Nakimuli omutuuze ku kyalo Kabembe mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono amagezi gwe geesibye ng’agamba nti yayagalana n’omusajja Muhamood Ssekiziyivu bwe yali akolera e Seeta ekisangibwa mu kibuga ky’e Mukono kyokka ono olwakitegeera nti ali […]