Abatuuze ku kyalo Bajjo mu divizoni y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono baguddemu encukwe omwana ow’omwaka ogumu bw’amize ekijanjaalo ne kimutuga n’afa.
Okusinziira ku maama w’omwana, Racheal Neluba, mutabaniwe Charlie Odongo yamira ekijanjaalo ku Lwomukaaga ku makya ne kimutuga n’amuddusa mu ddwaliro erimu e Seeta – Mukono wabula ng’olw’embeera ye, baawalirizibwa okumwongerayo mu ddwaliro e Mulago gye yalongoosebwa ne basanga ng’ekijanjaalo kyabadde kituuse mu mawuggwe.
Neluba agamba nti mutabaniwe yasobola okudda engulu naye n’asigala nga yeesika ne babasindika mu ICU gye yateekebwa ku byuma era naddamu okutereera.
Eby’embi, ono agamba nti ate embeera yatabuse n’afa wabula ng’abasawo bagamba nti yafudde kirwadde kya mutima (cardiac arrest).
Ono awadde abazadde amagezi okufaayo ennyo ku baana ng’agamba nti wadde nga tekibadde kyangu kukkiriza nti ekijanjaalo obujanjaalo kiyinza okuvaako okufa kw’omwanawe, kituufu kyamusse.
Omwana ono mutabani wa Samuel Odongo, omukozi ku palamenti y’eggwanga mu Kampala ng’agenda kuziikibwa mu ttawuni y’e Ngora mu disitulikiti y’e Ngora olunaku lw’enkya.
Abamu ku batuuze boogedde ku kikangabwa kino ne bongera okulabula abazadde n’abantu be balekera abaana awaka okwongera okubateekako eriiso ejjogi.