Kitalo! Omulamazi Munnayuganda Afiiridde e Makkah

  Abalamazi Bannayuganda abaagenda okulamaga mu kibuga ekitukuvu e Makkah baaguddemu ekikangabwa omu ku bannaabwe bwe yafiiriddeeyo. Omugenzi kati ye Hajjat Rehma Nakaggwe (76), ng’abadde mukyala wa Hajji Jafar Kabirigo omutuuze w’e Bulenge mu disitulikiti y’e Bukomansimbi. Okusinziira ku gava e Makkah, ab’oluganda lwa Hajjat Nakaggwe tebagenda kufuna mukisa gumuziikako kuba bagenda kumuziikayo.  

error: Content is protected !!