Poliisi e Kireka mu munisipaali y’e Kira ekutte n’eggalira omukazi agambibwa okuba malaaya eyakkakkanye ku muyizi omulenzi owa P.5 n’amusobyako. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango ategeezezza nga poliisi bwe yakutte Sandra Lokot atemera mu gy’obukulu 28 omutuuze w’e Kireka Zone B ng’ono avunaanibwa kwekakaatika ku kalenzi ak’emyaka 15 egy’obukulu n’akakaka akaboozi ak’ekikulu. […]