Gavumenti Yakwongera Amaanyi mu Kutumbula Ebitone mu Baana N’abavubuka

BYA TONNY EVANS NGABO | WAKISO | KYAGGWE TV | Gavumenti ekakasiza nga bw’egenda okwongera amaanyi mu kutumbula eby’emizannyo naddala emisinde, okusamba emipiira, okubaka, volleyball n’ebirala. Okuvaayo kiddiridde Munnauganda Joshua Cheptegei okuteeka bendera ya Uganda ku mmaapu bwe yawangudde omudaali gwa Zaabu mu kutolontoka embiro empanvu eza mmita omutwalo mu mizannyo gya Olympics egiyindira e Bufalansa. […]

Abayivu Basabiddwa Obuteesamba Nsonga Zaakulwanirira Ddembe lya Buntu

Abayizi ku yunivasite ez’enjawulo basabiddwa okukulemberamu kaweefube w’okulwanirira eddembe ly’obutundu erisisse okutyoboolebwa mu ggwanga ensangi zino baleme nsonga eno kugirekera bannabyabufuzi bokka n’ebitongole eby’obwannakyewa. Bino byabadde mu kutongoza alipoota ey’okuna  ey’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso eya 2023 ku Makerere University, School of Veterinary Medicine ng’alipoota y’omulundi  guno ebadde ku mulamwa ogw’okwongera amaanyi mu ddembe ly’obulamu, […]

Ebitongole By’obwannakyewa (NGO) Birabuddwa ku Kukolera mu Nkukutu

Bya Tonny Evans Ngabo Ebitongole by’obwannakyewa (NGO) ebikakkalabiza emirimu mu disitulikiti y’e Wakiso birabuddwa okwewala okukozesa mu nkukutu ekituusa n’okuteeka eby’okwerinda by’eggwanga ku bunkenke.  Okulabula kuno kukoleddwa akulira abakozi BA gavumenti mu disitulikiti y’e Wakiso  Alfred Malinga bw’abadde asisinkanyebab’ebitongole by’obwannakyewa eby’enjawulo ebikolera mu Wakiso ku ttabamiruka waabwe afundikira omwaka. Malinga agambye nti oluvannyuma lwa gavumenti […]

Ssaabasumba Ayanukudde President Museveni-Abazadde Obutabaako Kye Basasula ku Masomero Kikyamu!

Bya Tony Evans Ngabo Ssaabasumba w’essaza lya Klezia ekkulu erya Kampala, Paul Ssemwogerere ayanukudde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yavuddeyo n’agamba nti eggwanga bwe linaaba lyakulinnya ku nfeete ekirwadde kya Siriimu (HIV/AIDS) abazadde tebasaanidde kusasula bisale mu masomero. Museveni ng’asinziira mu disitulikiti y’e Rakai eggwanga gye lyakulizza olunaku lwa Siriimu olw’ensi yonna ku Lwokutaano […]

Embeera Y’essomero lya Kasanje C/U Yeeraliikiriza

Bya Tony Evans Ngabo Embeera  ku ssomero lya Kasanje Church of Uganda Primary School mu Kasanje ttawuni kkanso mu disitulikiti y’e Waakiso yeeralikirizza abatwala eby’enjiriza wamu n’abakulembeze ba disitulikiti eno. Bano bagamba nti ebizimbe ebisinga abayizi mwe basomera bikutte mu mbinabina, ebimu bikadde nnyo ng’ate bitonya ekitagambika nga mu kiseera kino abamu ku bayizi basomera […]

Amaka Agakuuma Abaana Abatalina Mwasirizi Gaweereddwa Nsalessale

Bya Tonny Evans Ngabo Omuwendo gw’amaka  agakuumirwamu  abaana  abatalina mwasirizi agakolera mu bumenyi  bw’amateeka mu disitulikiti ez’enjawulo geeyongedde. Abakungu okuva mu minisitule y’ekikula ky’abantu bagamba nti kino kivuddeko abaana bangi okutuusibwako obulabe okuli n’abakukusibwa ne batwalibwa ebweru w’eggwanga ng’abantu abeefuula ababayamba bakozesa obunafu mu bitongole bya gavumenti eby’enjawulo. Okwogera bino, bano baaabadde mu disitulikiti y’e […]

error: Content is protected !!