Bya Tonny Evans Ngabo
Omuwendo gw’amaka agakuumirwamu abaana abatalina mwasirizi agakolera mu bumenyi bw’amateeka mu disitulikiti ez’enjawulo geeyongedde.
Abakungu okuva mu minisitule y’ekikula ky’abantu bagamba nti kino kivuddeko abaana bangi okutuusibwako obulabe okuli n’abakukusibwa ne batwalibwa ebweru w’eggwanga ng’abantu abeefuula ababayamba bakozesa obunafu mu bitongole bya gavumenti eby’enjawulo.

Okwogera bino, bano baaabadde mu disitulikiti y’e Wakiso ne bategeeza nti ate ekiri eno, kissaa kinegula, ng’amaka mangi agatandikiddwawo nga galina abaana be bagamba abatalina mwasirizi be balabirira naye nga tebaaalina bisaanyizo.
Minisita omubeezi avunaanyizibwaa ku nsonga z’abaana n’abavubuka, Sarah Nyirabashitsi Mateke ategeezezza nti amaka amakumi abiri mu mukaaga (26) mu disitulikiti y’e Wakiso ge gakolera ebweru w’amateeka nga tegafunanga lukusa okuva mu minisitule y’ekikula ky’abantu (Ministry of Gender, Labour and Social Development).
Eby’embi, Minisita Mateke agambye nti amaka gano ge gasingamu omuwendo gw’abaana abangi wabula nga amakumi asatu gokka ge gaakakaasibwa mu mateeka ne gaweebwa olukusa olukuuma abaana abatalina mwasirizi.
Mateke asinziridde ku kitebe kya disitulikiti y’e Wakiso mu nsisinkano gy’abaddemu n’abakwatibwako ku nsonga eno n’alabula bonna abakuuma abaana mu bumenyi bw’amateeka nti bakukwatibwa okutandika n’omwaka ogujja mu mwezi gw’okusatu awatali kubaako gwe battira ku liiso.
Mu ngeri y’emu, ono alaze obwenyamivu eri abazadde abeesuliddeyo ogwannaggamba ku nsonga y’okukuza abaana baabwe nga kino kiviriddeko omuwendo gw’abaana abatalina waabwe okweyongera naddala mu disitulikiti okuli Wakiso ne Kampala.
Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso Dr. Matia Lwanga Bwanika asinzidde wano n’ategeeza Minisita Mateke nti abakozi ba disitulikiti buli bwe bagenda mu maka gano agaliwo mu bumenyi bw’amateeka batiisibwatiisibwa era abagakulira ne babaako abanene be bakubira amasimu okulemesa abakozi baabwe okukola emirimu .
Ate ye Butanda Shafic nga y’atwala ensonga z’abaana mu minisitule eno, (Principal probation officer) yasabye abazadde okuva ku nsonga z’okuzaala abaana abangi be batasobola kulabirira nga agamba nti ofundako obutazaala okusinga okubonyabonya amabbujje agaleetebwa mu nsi nga tegalina musango.