Bannakibiina kya NUP e Mukono nga bakulemberwa abakulembeze baabwe okuli omubaka wa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke, omubaka omukyala owa disitulikiti Hanifa Nabukeera ne Robert Peter Kabanda batuuzizza olukiiko lw’amawulire ne balaga obwetegefu bwabwe okwaniriza Principal wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu mu kutalaaga disitulikiti y’e Mukono okukunga obuwagizi n’okutongoza enteekateeka y’okuwandiika bannakibiina. Bano olukungaana […]
Wadde Minisita omubeezi ow’eby’ettaka yavaayo ne yeegaana eky’okuzza ku ttaka ab’ebibanja n’okubakumamu omuliro okwonoona ebintu by’ekkanisa n’eby’abantu abalala okuli ery’ekkanisa ya St. Luke Town Church Kirangira mu munisipaali y’e Mukono ne ku ttaka ly’omugagga Dick Israel Banoba ku byalo okuli Kirangira ne Lwanyonyi, abeeyita ab’ebibanja bakyagenda mu maaso n’okukola effujjo si ku kkanisa yokka wabula […]
Oluvannyuma lw’okuva mu bulamu bw’ensi eno, enteekateeka z’okuziika munnamawulire Geoffrey Kaweesa zifulumye. Kaweesa nga yafiiridde mu ddwaliro e Kiruddu gy’amaze ebbanga ng’ekirwadde kya kkansa kimugoya agenda kuziikibwa ku kyalo Namawojjolo-Buligobe ekisangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono olwaleero ku Lwokusatu nga May 22, 2024 ku ssaawa kkumi ez’olw’eggulo. Kaweesa nga yazaalibwa nga June […]
A dark period has turned for Mukono District Chief Administrative Officer, Elizabeth Namanda over failure to interdict Robert Mbaziira, the Mukono District Senior Land Management Officer. In October last year, Mbaziira was arrested on the orders of the State Minister for Lands Sam Mayanja who had visited the district to settle the escalating land […]
Ab’amawulire baguddemu encukwe enkya ya leero bwe bafunye amawulire g’okufa kw’omu ku bannaabwe, Geoffrey Kaweesa. Kaweesa nga tannalwala yali asoma mawulire ku Top TV kyokka ng’ekirwadde kya kkansa kyamugwira ne kimugonza nga kirudde nga kimugonya. Ono afiiridde mu ddwaliro e Kiruddu. Kaweesa mutuuze w’e Mukono mu ggombolola y’e Nama era yeesimbawo kko mu by’obufuzi nga […]
Poliisi e Mukono ekutte n’eggalira omukazi agambibwa okudda ku bba n’amufumita ebiso ebyamusse olwo omulambo gwe n’abeera nagwo mu nnyumba okumala ennaku ssatu. Ruth Musimenta (30) y’atemeza emabega w’emitayimbwa nga n’ogumulangibwa kwe kutta James Nsubuga amanyiddwa ennyo nga Jamila gw’alinamu abaana babiri. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango, abafumbo […]
Poliisi y’e Mukono eyitiddwa bukubirire okutaasa abavubuka babiri abagambibwa okudda kw’omu ku batuuze ku kyalo Nassuuti omukyala amannya agataategeerekese ne bamufera ne bamubbako esnimbibi ze eziwera ddala. Kigambibwa nti bano oluvannyuma lw’omulundi ogwasooka okufera omukyala ono ne bibagendera bulungi, nti era abaabadde bakomyewo batandikire we baakoma olwo naye ne yeekubira enduulu abatuuze babasalako ne babakuba […]
The Ministry of Local Government witnessed a significant milestone as Minister Raphael Magyezi and Permanent Secretary, Ben Kumumanya handed over nine vehicles to the nine implementing entities of the Greater Kampala Metropolitan Area. These entities include Kampala, Mukono, Wakiso, Mpigi, Nansana, Kira, Entebbe, Makindye Ssabagabo, and Kampala in their respective municipalities. Uganda has embarked on […]
Minisita omubeezi ow’eby’ettaka Sam Mayanja alaze obutali bumativu olw’ekkanisa okumenya amayumba g’abatuuze n’okusendawo ebibanja byabwe n’ezimba ekkanisa galikwoleka. Obutali bumativu Minisita Mayanja yabulagidde ku kyalo Kirangira ekisangibwa mu Mukono Central divizoni mu munisipaali y’e Mukono abatuuze bwe baamukaabidde amaziga mu maaso nga bagamba nti omusumba atwala ekkanisa ya St. Luke e Kirangira, Rev. Rogers Kityo […]
Ab’eby’okwerinda mu disitulikiti y’e Mukono nga nga bakulembeddwa RDC Hajjat Fatuma Ndisaba Nabitaka nga bali wamu n’abakola ku gw’okubala abantu mu disitulikiti ne munisipaali y’e Mukono baliko maneja wa loogi emu gwe bakutte n’atwalibwa ku poliisi e Mukono n’aggalirwa ng’avunaanibwa kulemesa nteekateeka ya kubala bantu mu kifo kino. Peace Namakula maneja wa Gofret Motel e […]