Abazadde Mukulize Abaana Mu Katonda

Ekkanisa ya Uganda ekkuziza olunaku kabaka Herode lwe yattirako abaana nga luno lukuzibwa nga buli ennaku z’omwezi 28 December. Mu kusaba, abazadde basabiddwa okuteeka essuubi mu baana baabwe baleme okugujuubanira ebintu by’ensi ne bava ku katonda. Rev. Ssalongo James Lubega Musisi omusumba w’obusumba bw’e Bbira mu busaabadinkoni bw’e Nateete mu bulabirizi bw’e Namirembe asinzidde mu […]

Bp. Bbanja Asitukidde mu Gavumenti ku Bubbi Bw’ettaka Okufuuse Ekigenge Ekitawona

BYA TONNY EVANS NGABO KIRA | KYAGGWE TV | Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Namirembe kitaffe mu Katonda Moses Banja mwenyamivu olw’emivuyo egigenda mu maaso mu Minisitule y’eby’ettaka mu ggwanga ng’agamba nti gino gye giviiriddeko ekibba ttaka okwongera okwegiriisa ng’ekigotta entula. Bp. Banja agamba nti egimu ku mivuyo egikudde ejjembe kwe kufulumya ebyapa ebisoba mu kimu ku […]

Kabaka Alumbye Abataka Ab’Obusolya Abaagenda e Namibia Olw’okuwubisa Abantu ku Nnono N’Obuwangwa Bwa Buganda

| MENGO | KYAGGWE TV | Abaganda baagera nti Endiga “Endiga okusulika omutwe, tekigigaana kumanya mbuzi gye ziraze”, olugero luno lutuukira bulungi ku mbeera ebaddewo mu Buganda ebbanga Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II ly’amaze ng’obuamu bukosefu n’atuuka n’okutwalibwa ebweru w’eggwanga mu mawanga ag’enjawulo okuli n’e Namibia gye yafundikiridde olugendo lw’obujjanjabi. Kabaka ng’anaatera okukomawo […]

Kiki Ekiri Emabega W’enkyukakyuka Enkambwe Bp. Banja ze Yalangiridde e Namirembe?

Omulabirizi w’e Namirembe, Moses Banja abaali obuweereza bwe butandise okukaawa, abalowooza okubeera abanene okusinga ye oba okusinga obulabirizi abasitukiddemu era bamutenda bukambwe. Wiiki ewedde, ono yagobye kkwaya ya Lutikko y’e Namirembe ebadde engundiivu n’asaba bammemba baayo bade ebbali n’abateekako n’olukiiko lubanoonyerezeeko. Omulabirizi Banja teyakomye okwo, era yasiguukuludde n’abamu ku baawule ababadde boogerwako ng’ab’amaanyi era abaazimba […]

error: Content is protected !!