Ekiwayi ky’Abakulu b’ebika mu Buganda abaawalaazizza empaka ne bagenda e Namibia okulaba embeera Kabaka gy’alimu kibabuseeko bwe babagaanye okumulaba. Bano baagenze beewera nti ka gwake, k’etonnye, teri kigenda kubaziyiza kulaba Kabaka era ne basuubiza nti baabadde baakukomawo e Uganda babuulire abantu ba Nnamunswa embeera gy’alimu, wabula bano bibakalidde ku matama bwe babagaanye wadde okumulengerako. Okuva […]
Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka, Jjajja Namwama Augustine Kizito Mutumba akunze omukulu w’ekika ky’Endiga omuggya, Eria Luggya Lwasi okufuba okugatta bazzukulube abeeyawuddemu ebiwayi by’agambye nti bye byaviirako n’okuttibwa kwa Lwomwa omubuze, Ying. Daniel Bbosa. Okuvaayo ku nsonga eno, Jjajja Namwama abadde ayogera eri Lwomwa Luggya Lwasi oluvannyuma lw’okumumwanjulira mu butongole ku Bulange e Mengo. Lwomwa omubuze, Ying. […]