Ebyewuunyisa nga bwe bitaggwa mu nsi, omwana Joel Mwanja Praise ow’emyaka 12 gyokka azitowa kkiro 172. Wadde bazadde be tebaasooka kutegeera buzibu mu bulamu bwe okuyimbulukuka mu ngeri etategeerekeka, bano oluvannyuma baakizuula nti buno bulwadde era bagamba embeera gy’ayitamu si nnungi. Fredrick Mawanda kkooki ayamba ku Mwanja okukola dduyiro agamba nti mu kiseera kino waliwo […]
