Kyaddaaki poliisi ya Uganda ewadde Bannakibiina kya NUP e Mukono ekyanya okugenda mu maaso n’okukyaza pulinsipo w’ekibiina kyabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine. Na bwe kityo, bannakibiina e Mukono n’ebitundu ebirinanyeewo basuze bulindaala, ng’essaawa bazibalira ku ngalo batere bakube ku mwagalwa waabwe amaaso n’okuwulira ku bubaka bwe ku nsonga ez’enjawulo. Embeera eno […]