Ekkanisa ya Uganda eguddemu leenya ssitaani bw’akemye musajja wa Katonda ali ku ddaala ly’omubuulizi okukkakkana ng’asenzesenze omuyizi w’essomero n’amutwala mu loogi n’amutunuza mu mbuga za sitaani. Omubuulizi mu kadde kano eyeevuma ssitaani ye Nicholas Muhumuza ow’ekkanisa ya Uganda ey’e Katojo mu Busaabadinkoni bw’e Bikungu mu bulabirizi bwa West Ankole. Muhumuza yakwatiddwa ku Lwokusatu n’omuyizi w’essomero […]