Oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu ab’enjawulo babanja n’okuteeka ku nninga naddala Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda n’ab’olulyo Olulangira okuvaayo bategeeze Obuganda ebikwata ku bulamu bwa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II nga bategeeza ng’obulamu bwe butali bulungi, kyaddaaki Obwakabaka buvuddeyo n’okulambika okwenkomeredde. Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa olwaleero, Katikkiro, Bamminisita e […]
