Joe Kayima Wavamunno, mutabani w’omugagga Prof. Gordon Wavamunno eyafiira mu ggwanga lya Thailand n’afa aziikiddwa ku biggya bya bajjajjaabe e Nakwero.
Obwakabaka bwa Buganda bisinzidde mu kuziika kuno ne busaasira Prof. Wavamunno olw’okufiirwa mutabani we ono omukulu Joe Kayima Wavamunno.
Obubaka obw’okusaasira okuva Embuga, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abutisse Omumyuka we Owookubiri Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa abusomedde abakungubazi abeetabye mu kuziika.
Kayima yava mu bulamu bw’ensi ku Lwomukaaga nga 14/09/2024 era yafiira Thailand.
Mu bubaka buno, Katikkiro asiimye omugenzi olw’okukola obutaweera ate n’obukugu mu kutambuza emirimu gy’ebitongole eby’enjawulo kitaawe bye yatandikawo era yeebaziza Katonda olw’obulamu bw’amuwadde ne by’amusobozesezza okukola mu kiseera ky’amaze ku Nsi.
Katikkiro era yeebalizza Prof. Wavamunno olw’okusiga mu baana be ensigo ey’obukozi, n’okubaagazisa Obwakabaka n’ensi yaabwe.
Katikkiro era asaasidde Omutaka Katongole, omukulu w’Ekika kye Ente olw’okuviibwako Omuzzukulu, asaasidde nnyo ab’enju n’abooluganda bonna aba Joe Kayima Wavamunno gw’ambye nti ajja kujjukirwa nnyo, naddala olw’empisa ze, okukolagana obulungi n’abantu n’obwetowaze.
Omukolo gw’okuwerekerako Joe Kayima gwetabiddwako; Nnaalinya Lubuga Agnes Nabaloga, Nnaalinya Sarah Kagere, Omulangira David Kintu Wasajja, ba Minisita n’Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, abakulembeze mu Gavumenti eya wakati, n’abakungu abalala bangi.