Omumyuka asooka owa Ssekiboobo David Kato Matovu atuuzizza n’okulayiza Omwami wa Kabaka ow’omuluka gw’e Mpoma II ogusangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono. Sylvia Kyowa Kyobe y’atuuziddwa wakati mu mukolo ogujjudde essanyu, emizira, engoma n’amazina nga bino bisaanikidde ebyalo okuli Mpoma n’e Kisowera. Omumyuka wa Ssekiboobo nga ye mwami wa Kabaka atwala […]