Ab’enzikiriza y’Abalokole mu ggwanga baguddemu encukwe ey’amaanyi oluvannyuma lwa musumba munnaabwe Pr. James Nsimbe ow’ekkanisa ya God is Able Church e Nama -Kasokoso mu disitulikiti y’e Mukono okufa ekibwatukira. Okusinziira ku Ssebuggwawo George William, muganda w’omugenzi, agamba nti mu kiro ekya keesezza ku Lwokutaano, omugenzi yaddusiddwa mu ddwaliro e Mukono nga biwala ttaka ng’eno gye […]