Maama wa Buganda, Nnaabagereka Sylvia Nagginda akunze Bannayuganda okwettanira enkola ey’obutubulamu omuli okubeera n’empisa, obwetowaze, obuyonjo, amazima, obuvunaanyizibwa, obwenkanya n’ebirala. Omukolo guno ogubadde ogw’ekitiibwa guyindidde ku Sheraton Hotel mu Kampala mu Kampala mu kiro ekikeesezza ku Lwomuk aaga nga gwetabiddwako abakukunavu ab’enjawulo okuva mu Bwakabaka bwa Buganda ne mu gavumenti eya wakati. Minisita w’ekikula ky’abantu, […]
BYA BRENDA NANZIRI Nnaabagereka Sylvia Nagginda yatongozza kaweefube w’okulwanyisa n’okukendeeza omuwendo gw’abantu abalina obukosefu ku bwongo (mental health illness). Okusinziira ku basawo mu ggwanga, ekizibu ky’obulwadde bw’obwongo kicaase nnyo ensangi zino wabula nga kaweefube ono waakuyitibwamu okulaba ng’abalwadde b’emitwe basobole okufuna obulamu obweyagaza n’okutema empenda okulaba ng’abalala beewala embeera eziyinza okulwala. Kaweefube ono ng’atuumiddwa Queen’s […]