Maama wa Buganda, Nnaabagereka Sylvia Nagginda akunze Bannayuganda okwettanira enkola ey’obutubulamu omuli okubeera n’empisa, obwetowaze, obuyonjo, amazima, obuvunaanyizibwa, obwenkanya n’ebirala.
Omukolo guno ogubadde ogw’ekitiibwa guyindidde ku Sheraton Hotel mu Kampala mu Kampala mu kiro ekikeesezza ku Lwomuk
aaga nga gwetabiddwako abakukunavu ab’enjawulo okuva mu Bwakabaka bwa Buganda ne mu gavumenti eya wakati.
Minisita w’ekikula ky’abantu, Betty Amongi ye yakiikiridde gavumenti eya wakati.
Nnaabagereka yategeezeza nti enteekateeka eno egendereddwamu okutumbula empisa mu bavubuka n’abantu bonna awatali kusosola mu mawanga era egenda kutambuzibwa mu ggwanga lyonna, bwatyo n’asaba abantu bonna okugijjumbira.
Obuntubulamu bunnyonnyolwa ennyingo nga; Obwerufu, Obwetowaze, Obuyonjo, Amazima, Obuvunaanyizibwa, Okwewaayo, Obwenkanya, n’endala.
Ye Minisita Amongi yasiimye Nnaabagereka bulijjo olw’okuvangayo n’enteekateeka ennungi ezirumirirwa abantu bonna awatali kusasolamu nga yanokoddeyo ekisakaate ekimaze emyaka egiwera nga kigunjula abaana mu Buganda ne Uganda yonna nga kati kyabuuka n’ensalo ne gituuka n’ebweru wa Uganda ate ng’olw’omulwama omulungi kwe kyatandikirwa, abantu bakyeyunidde nnyo.
Ono yasuubizza okuwagira enteekateeka eno ey’obutubulamu egenda okuyamba okuzza Bannayuganda ku mulamwa.