Abantu okuva ebule n’ebweya beeyiye ku kyalo Nkokonjeru mu ttawuni kkanso y’e Nkokonjeru mu disitulikiti y’e Buikwe okwabya olumbe lw’eyali omukulembeze mu kitundu kino, Ssaalongo Edward Ssamanya. Prof. Ssamanya abasinga nga bwe baali bamumanyi yali munnabyanjigiriza, munnabyabulamu, era munnankulaakulana ayogerwako n’okujjukirwa ng’eyali mugattabantu. Emikolo gy’okulaga omusika wa Ssamanya gikulembeddwa n’okusaba okukulembeddwa omulabirizi w’e Mukono eyawummula, […]
Abatuuze abawangaalira ku mutala Nkokonjeru n’ebyalo ebirinanyeewo mu ttawuni kkanso y’e Nkokonjeru baaguddemu encukwe bwe baafunye amawulire g’okufa kw’omu ku babadde abakulembeze ab’olulango mu kitundu. Ssaalongo Edward Ssamanya ng’ono ye yali meeya wa ttawuni kkanso y’e Nkokonjeru eyasookera ddala ye yafudde ekikutuko nga yasangiddwa mu buliri nga lwamugolodde dda. Ssamanya ayogerwako nga munnabyanjigiriza omwatiikirivu era […]