Disitulikiti y’e Wakiso kyaddaaki ettadde omukono ku ndaagano ne kkampuni y’Abachina eya CHONGQING INTERNATIONAL CONSTRUCTION CORPORATION (CICO) okukola oluguudo lwa Ssentema -Bukasa – Kakiri olumaze ebbanga nga lukaabya Bannayuganda abalukozesa olw’enfuufu ebadde esusse okubalwaza ebirwadde n’okubafiiriza bbizinensi. Pulojekiti eno yaakuwemmenta obuwumbi bw’ensimbi za Uganda obusoba mu 66 mu nteekateeka evujjurirwa banka y’ensi yonna. Akulira abakozi […]