Buli May 3, lwe lunaku lw’eddembe ly’ab’amawulire olw’ensi yonna. Mu mbeera eyo, ab’amawulire abakakkalabiza emirimu gyabwe mu mikutu egy’enjawulo nga basinziira mu bbendobendo ly’e Mukono beegasse ku bannaabwe okukuza olunaku luno. Bano bakungaanidde ku lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya mu kibuga Mukono mu kusaba okukulembeddwa Provost wa Lutikko eno, Godfrey Ssengendo ng’ayambibwako Vviika wa Lutikko, […]