RDC Kagaaga ng'atongoza n'okukwasa dayirekita wa Good Samritan Children's Home, Fred Migadde (ku ddyo) tukutuku egenda okuyambako ku mirimu.

Temukozesa Ssente Za Kwongera mu Bbizinensi Kujjanjaba Baana Balwadde-RDC

2 minutes, 48 seconds Read

Amyuka omubaka wa gavumenti mu kibuga Mukono, Rodha Tiitwe Kagaaga alabudde abaliko obulemu okukomya okwekubagiza olw’obulemu mwe bali wabula bakozese buli kakisa gavumenti k’ebateereddewo okulwanyisa obwavu.

Abo abalabirira abaana abaliko obulemu RDC Kagaaga abawadde amagezi obutakozesa nsimbi zibaweereddwa kukola mirimu ate kuzizza mu kuijjanjaba baana nga tebannaba kuzizazaamu, wabula bamale okuzikozesa emirimu olwo bakozese amagoba mu kujjanjaba abaana, emirimu gyabwe gireme kuzinngama.

Ono abadde asisinkanye ba mmemba mu bibiina by’abalabirira abaana abaliko obulemu mu kibuga Mukono okuli n’amaka agalabirira abaana ab’engeri eno aga Good Samaritan Children’s Home agasangibwa e Nassuuti mu Mukono Central division.

Kyambogo University EC Disqualifies Both NUP, NRM Guild Presidential Candidates

Amyuka RDC Kagaaga ng’ayogera eri abakulembeze b’abaliko obulemu mu kibuga Mukono ne bazadde b’abaana abaliko obulemu.

Ebibiina bino mukaaga bye bifunye ensimbi eziwerera ddala obukadde 26 okuva ku mutemwa ku nsimbi gavumenti ze yassaawo okulabirira abaliko obulemu. Ensisinkano ebadde ku kitebe kya Musipaali y’e Mukono.

Kagaaga alaze obwennyamivu okulaba nti wadde nga gavumenti essa ensimbi obukadde 90 ku buli bukadde 450 ezisindikibwa e Mukono olw’okuyamba abantu abalina obulemu ku mibiri okuva mu bwavu, batono ddala abazikimayo nti era ezisinga zimaliriza zigenze mu batalina bulemu oba okuddayo mu gavumenti nga tezikozeseddwa.

Agambye nti olw’ensonga eyo, be bajja okunenyezebwa okusigala mu mbeera ebanyoomya so nga gavumenti ebadde erafuubana okukyusa embeera zaabwe n’okulwanyisa eky’okubatunuulira ng’abateesobola era abayimiriddewo ku batalina bulemu.

Susan Wamala Sserunkuuma: Singing Praises to the Education Icon

Abamu ku bakulembeze b’abaliko obulemu ne bazadde b’abaana abaliko obulemu nga bawuliriza amyuka RDC Kagaaga ng’ayogera.

Mu kwogera eri abalema, abakiikirira ku lukiiko lw’ekibuga Mukono, Ramathan Lubowa naye abakubirizza okumenya enjegere zonna e zibasibye era ezisibukako okubaboola nga bayaayaanira ensimbi n’entegeka endala eza gavumenti ez’okuggya abantu mu bwavu.

Lubowa, nga mulimi era omulunzi omugundiivu mu Mukono, yenyamidde olw’abantu b’agambye nti tebasiima bibakoleddwa gavuenti ng’abalema, n’agamba nti waliwo n’abalema bataano abeefunyiridde mu kaweefube w’okwogerera NRM amafuukuule nga beerabidde n’ebiringi ebizze bibakolerwa.

Wano waategeerezza ababadde bamuwuliriza nti okusobola okulwanyisa embeera eno, yasazeewo okwesimbawo avuganye ku kifo kya ssentebe wa NRM ekya Mukono Central division, n’abasaba bamuwagire.

Kkansala Lubowa (ku kkono), ow’abaliko obulemu mu kkanso ya munisipaali y’e Mukono.

Kansala w’abaliko obulemu mu divizoni y’e Goma Goma, Timothy Ssemakula akubirizza abazadde b’abaana abalina obulwadde bw’ensimbu obutaggwamu maanyi kubagulira ddagala, nti wadde ng’obulwadde tebujja kugenda mu nnaku bbiri oba ssatu, abaana bano bagwana okuweebwa buli kakisa nabo okusobola okweyagala ng’abaana abalala.

Ssemakula bwatyo akubidde omulanga bonna abafunye ensimbi zino n’abo abaafuna edda obutazikwata bubi nti wadde nga si za kuzzaayo, okuzikozesa obulungi kijja kusikiriza gavumenti okubongera endala eyo gye bujjamu maaso.

Yabeebazizza abazadde b’abaana abaliko obulemu abaganyuddwa mu nteekateeka eno obutakweka baana baliko bulemu ng’abantu abamu bwe bakola, n’abakubiriza babeere ababaka mu kutwala kaweefube w’okuggyayo abaana bano abakyakwekeddwa mu byalo eyo gye babeera basobole okuyambibwa.

Dayirekita wa Good Samaritans Children’s Home, Fred Migadde agambye nti ensimbi ezibaweereddwa baazigulamu ppiki ppiki eyakazibwako erya ‘tuku tuku’ era omumyuka wa RDC Kagaaga eno egitongozza okukola emirimu egiyamba abaana ng’okubakimira amazzi, okubasombera enku n’emmere.

Kkansala Lubowa (ku kkono) ne Migadde owa Good Samarita Children’s home ku tukutuku etongozeddwa amyuka RDC Kagaaga.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!