Abantu okuva ebule n’ebweya beeyiye ku kyalo Nkokonjeru mu ttawuni kkanso y’e Nkokonjeru mu disitulikiti y’e Buikwe okwabya olumbe lw’eyali omukulembeze mu kitundu kino, Ssaalongo Edward Ssamanya.
Prof. Ssamanya abasinga nga bwe baali bamumanyi yali munnabyanjigiriza, munnabyabulamu, era munnankulaakulana ayogerwako n’okujjukirwa ng’eyali mugattabantu.
Emikolo gy’okulaga omusika wa Ssamanya gikulembeddwa n’okusaba okukulembeddwa omulabirizi w’e Mukono eyawummula, Bp. James William Ssebaggala. Abantu beekuluumuludde okuva mu disitulikiti okuli Buikwe, Mukono, Kayunga, Wakiso, Luweero, n’ewalala. Bano kuliko bannabyanufuzi, bannaddiini, abasuubuzi, n’abakungu okuva ku ssaza ly’e Kyaggwe nga bakulembeddwa omumyuka wa Ssekiboobo asooka, Moses Ssenyonjo Kiyimba.
Omulabirizi Ssebaggala asiimye era n’atendereza nnyo obuweereza bw’omugenzi Ssamanya. Agambye nti ono teyakoma kuweereza kkanisa na bulabirizi bw’e Mukono bwokka wabula yakola kyamaanyi nnyo n’eri eddiini endala omuli klezia n’emizikiti.
Omumyuka wa Ssekiboobo Ssenyonjo naye asiimye Ssamanya olw’omulimu omunene gwe yakola okusomesa abantu ba Kabaka n’okubakunga okusoma n’okusomesa banana ssaako okubakunga okukola n’okukola ennyo. Anokoddeyo nti ng’ali ku lukiiko lwa bboodi y’essomero lya St. Balikuddembe s.s e Kisoga, nti olumu ng’embeera etabanguse ng’abaliddukanya ensimbi zibeekubya mpi, nti yawaayo ekyapa kye ne beewolerako ensimbi ezaayamba okutwala mu maaso emirimu gy’essomero.
Ssenyonjo era akunze Bannakyaggwe okwettanira okulima emmwanyi ng’agamba nti eno y’engeri yokka eggya okuyamba abantu ba Beene okuva mu bwavu.
Prof. Ssamanya yava mu bulamu bw’ensi NGA December 12, 2023.
Omulabirizi Ssebaggala asabidde omusika wa Ssaalongo Ssamanya, Derrick Bulwa n’aba ffamire abasigadde.