Bookezza Emmotoka Y’ababbi B’ente, Abagibaddemu Basimattuse!!!

1 minute, 52 seconds Read

Emmotoka egambibwa okuba ey’ababbi abatuuze gye baakumyeko omuliro yabadde kika kya Ipsam nnamba UAN 935E.

BYA ABU BATUUSA | WAKISO |KYAGGWE TV |

Abatuuze b’e Bakka mu LC y’e Kitooke mu ggombolola y’e Mende mu disitulikiti y’e Wakiso bataayizza abantu be bateeberezza okuba ababbi b’ente ababadde batambulira mu motooka ekika kya Ipsam ne bagibasuuza ne badduka olwo nabo obusungu ne babuzza ku mmotoka gye bakumyeko omuliro n’ebengeya.

Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri. Emmotoka egambibwa okuba ey’ababbi abatuuze gye baakumyeko omuliro yabadde kika kya Ipsam nnamba UAN 935E.

We twatuukiddewo ku makya ng’abatuuze bakunganidde ku motooka naye nga tekyategerekeka. Gye byaggweredde nga bansanga bisibe bagitemyetemye ne bagitwala okwefuniramu ez’amangu mu sikulaapu.

Twasobodde okwogerako n’abamu ku batuuze ne batugamba ng’obubbi bw’ente bwe bubadde bususse mu kitundu kino ng’ate emotooka y’emu y’ebadde ezisomba okuzitwala.

Abavubuka abalala baabadde bagezaako okusitula yingini ya mmotoka bagende bagitunde beefuniremu e’amangu naye n’ebalema olw’obuzitto bwe yabadde nayo.

Twabadde tukyali awo ne baleeta omuvubuka nga ye Lawrence Kakooza nga babadde bamutebereza okubeera omubbi era bamutuuzizza wansi n’atandika okwennyonnyolako.

Abatuuze baabadde batandise okumukuba ne wabaawo eyamubataasizzaako naye waabaddewo enkalu okumutwala era baamutuuzizza ku pikipiki ne bamuddusa okumujja mu bantu obutamutuusaako bulabe.

Ye Musa Byandala yatutegezezza ng’obubbi bw’ebisolo bwe bususse era n’asaba ebitongole by’eby’okwerinda okubawa obukuumi obwamanyi naye kino kiyinza okubaletera obutemu mu kitundu.

Omu ku batuuze eyabaddewo mu kiro ng’ababbi batalaaga ekyalo yatunyonyodde nga bwe baasuzze nga baguluba nga bataayiza ababbi naye ne bamala ne beemulula ne badduka ne basuula emmotoka mwe baabadde batambulira.

Ye ow’eby’okwerinda mu kitundu kino Kabuye Issa Job yatutegeezezza nga bwe batawanyizibwa enyo ababbi ababasuza ku bunkenke naye tebakyebaka olw’okwagala okukuuma abantu baabwe.

Ono yatutegeezezza ng’emmotoka eno nti tegubadde mulundi gumu nga bagiraba mu kubba ente era atubuulidde ente ababbi ze bazze babba ku batuuze nti ziwerera ddala.

Ate yo e Gganda ab’eby’okwerinda baliko ebintu bye baazudde mu nnyumba y’abavubuka nga kigambibwa nti bye bakozesa mu kubba abantu n’okubatemaatema.

Ebimu bye baazudde kuliko ejjambiya empya ttuku, ennyondo, magalo, n’ebimu ku bigambibwa nti bye babye mu kiro naye abavubuka tebasangidwamu mu nnyumba nga baakitegedde ne badduka.

Ye omwogezzi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango yakakasizza obubbi obwabadde e Bakka.

Onyango yasabye abatuuze obutatwalira mateeka mu ngalo wabula mu mbeera ng’eno bayute poliisi yo ekole okunoonyereza okulaba ng’ezuula ababbi basobole okuvunaanibwa.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!