Aba Ffamire ya Tamale Mirundi Beetondedde Obuganda

0 minutes, 45 seconds Read

Aba ffamire y’omugenzi, Joseph Tamale Mirundi beesitudde ne bagenda e Mengo ku kitebe ekikulu eky’obwakabaka bwa Buganda ne basisinkana Katikkiro Charles Peter Mayiga ne bamwetondera olw’omugenzi okuvvoola Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi n’Obuganda bwonna.

Bano mu nsisinkano ne Katikkiro ku Bulange e Mengo ku Lwokusatu ku makya baategeezezza nti oluvannyuma Tamale Mirundi okuva mu bulamu bw’eno, baafunye okukwatibwako n’okwekuba mu kifuba olw’ebikolwa by’omugenzi ne basalawo bagende beetonde ffamire yaabwe eveeko ekivume eky’okuvvoola Kabaka n’obuganda bwonna.

Wano Katikkiro we yasinzidde n’addamu okukubiriza abantu okusingira ddala abavubuka okubeera abeegendereza nga bakozesa omutimbagano kubanga gutereka ebintu, nga oli bwagukozesa obubi, by’akoze bimukosa mu maaso ate si ye yekka naye n’abantu be ne mikwano gye.

Yategeezeza nti okwetonda kikolwa kya buntubulamu ne yeebaza abavuddeyo okwetonda ku lwa Mirundi, bwatyo ku lw’Obwakabaka ne ku lulwe okwetonda kwabwe n’akukkiriza era n’asaba Katonda asonyiwe Mirundi ebyamusobako.

Bano bakulembeddwamu mukulu wa Mirundi, Ssali John Ssembuya, Nnamwandu w’omugenzi, bamulekwa n’abooluganda abalala.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!