Aba UPDF Abalwanyisa Envuba Embi Baswazizza Abakulembeze B’e Busoga

3 minutes, 46 seconds Read

Waabaddewo katemba atali musasulire okuva mu bakulembeze n’abatuuze abakola ogw’obuvubi ku nnyanja Nalubaale ku mwalo gw’e Lwanika mu ggombolola y’e Bukatuube mu disitulikiti y’e Mayuge abajaasi ba UPDF abakola ogw’okulwanyisa envuba emenya amateeka bwe baaleese obujulizi mu maaso g’abakulembeze abaabadde bawolereza abantu baabwe okukwatibwa n’okutulugunyizibwa nga tebalina musango.

Kino kyaddiridde abakulembeze ba NRM nga bakulembeddwa Ssaabakunzi atwala eggwanga lyonna Rosemary Nansubuga Sseninde nga ali wamu n’omwogezi w’ekibiina, Rogers Mulindwa okukuba olukiiko lwa bonna olumanyiddwa nga Bbalaza ku mwalo guno okuzuula ebiruma abantu ekyaviirako ne NRM okukola obubi mu kalulu ka bonna mu 2021 okulaba nga babigonjoola.

Abamu ku batuuze abeetabye mu bbalaza.

Bbalaza eno yeetabiddwamu ababaka ba palamenti, ababaka ba pulezidenti mu disitulikiti y’e Mayuge, ssentebe wa disitulikiti n’abakulembeze ba UPDF abakola ogw’okulwanyisa envuba emenya amateeka mu kitundu kino.

Abatuuze baakozesezza omukisa guno okwanja ebibaluma ebyabaviirako okukyawa NRM omuli okugobwa mu ntobazi mwe baalimiranga nga bagamba nti eno y’emu ku nsonga ebalumya enjala nga tebalina we balimira kamere nga bangibayimiriddewo ku mmere ya kugula nga n’emirimu omuva ensimbi tebalina.

Bano baategeezezza nti kyasooka na kubagoba mu kuvuba mpuuta n’emyennyanja ebirala ab’amagye bwe baabakubanga emiggo egya buli lunaku n’okubawambira ebikozesebwa mu kuvuba ssaako okubasiba, kyokka ate gavumenti n’emala eggobe mu kibya bwe yawera okuvuba mukene nga beeyambisa enkola emanyiddwa nga hariyaapu, eyabayambanga okuvuba mukene awerako ne bafuna eky’okulya nga bayita mu kutunda mukene ono.

Abamu ku bavubi ab’amagye be baakutte nga bavuba obwennyanja obuto.

Bwe kyatuuse ku bisuubizo Pulezidenti Museveni by’azze akola gye bali olwo ate ne gubula asala nga bagamba nti omukulu takyalina na nsonyi, buli kulonda lwe kutuuka, agenda gye bali n’abaako by’abasuubiza ne bitakolebwa naye nga tafaayo kulondoola nga n’abakulembeze baabwe tebafaayo kubanja na kujjukiza Pulezidenti okulaba ng’atuukiriza bye yabasuubiza.

m yabasuubiza okubagabira ekibira bakisenge ekiri mu yiiga ezisou bimu ku bisuubizo bye baanokoddeyo mwe muli eky’okuba nti omukulu yabasuubiza yiika eziri eyo mu 300 ez’ekibira bakozese ettaka lino okulimirako emmere kyokka nti ne bino byakoma mu bigambo ne gye buli eno tebyatuukirira ng’aba NFA abavunaanyizibwa ku bibira baabalemesa okulokozesa ng’omukulu bwe yabasuubiza.

Abakulembeze abakulembedwamu omubaka wa Bunya West, Agrey Bagiire, bakkansala n’abakulembeze abalala baalumirizza banamaje abaateekebwa ku nnyanja okukuba abantu emiggo nga tebalina musango nga bangi emigongo gyakutuka nga n’amaka gafudde olw’emiggo.

Kino kyatanudde abatuuze ne bakakasa ng’abaana baabwe bangi bwe bagweredde mu makomera nga babatunzizza n’ebyabwe okununulanga abasibe kye baagambye kino kisize obukyayi eri abantu ku gavumenti.

Munnamaje akulira okunoonyereza mu UPDF ku bumenyi bw’amateeka mu nvuba emenya amateeka, Maj. Joseph Cherop yalabye guli gutyo n’asindika basajjabe ku nnyanja okukola ekikwekweto eky’embagirawo ku bavuba mu ngeri emenya amateeka era waayise mbale nga basimbye olw’akasota n’abavubi mukaaga nga balina obwennyanja obuto obuwerera ddala bwe baabakutte nabwo n’obutimba obukozesebwa mu nvuba emenya amateeka.

Abatuuze n’abakulembeze bonna olwa kubye amaaso ku bwennyanja obuto n’obutimba obumenya amateeka ebigambo ne bibakalira ku matama ne batuuka okusoba ettaka libamire naye nga buteerere.

Ssaabakunzi wa NRM, Rosemary Sseninde ng’ayogera.

Ssaabakunzi Sseninde yavudde mu mbeera n’atabukira abantu bulijjo aboogera obulimba n’okusiiga eggye lya UPDF erikuuma ennyanja amafukuule n’agamba nti ate bano be basiiga gavumenti enziro.

Yalagidde abakulembeze omubadde ne bassentebe b’ebyalo obwedda aboogera ebikankana ku banna magye beetonde era boogere amazima nga bano bavuddeyo ne bafukamira mu lujjudde ne boogera amazima nga bingi bye baabadde boogedde bwe bwabadde obulimba era ne basaba ekisonyiwo.

Ssaabakunzi Sseninde yasabye ab’amagye ne basonyiwa n’abo be baabadde bakutte nga bavuba mu nvuba emenya amateeka n’agamba nti bano baateereddwa ku bukwakkuliko nti ssinga kabatanda ne baddamu ne basangibwa nga beenyigira mu nvuba emenya amateeka, baakuvunaanibwa n’amateeka bwe galagira.

Obumu ku bwennyanja obuto aba UPDF bwe baasanze n’abavubi be baakutte.

Maj. Cherop yalaze ebitimba bye balwanyisa ku mazzi omuli manyala, obwakazibwako Covid, bbungulu, n’ebirala kyokka n’ategeeza nti abantu bano emirundi mingi balumba abasirikale be ne babakuba amayinja n’enkasi wakati mu nnyanja ote olumala ne bategeeza nga bo bwe babakuba ekyonoonye erinnya n’ekifaananyi kyabwe.

Sseninde yagambye nti ekyabawalirizza okutandika enkungaana zino ezitagenda kukoma wano wabula okweyongerayo mu bitundu ebirala eby’eggwanga okulaba nga bamanya ebiruma abantu ebibareetedde okwekyawa ate obusungu ne babuzza ku gavumenti.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!