Ab’abaana abakulu mu mizigo eby’okwegatta mu lumummula mu byesonyiwe-poliisi

1 minute, 49 seconds Read

Bya Tonny Evans Ngabo

Ng’abaana kye baggye bawummule okuva ku masomero ne badda ewaka mu luwummula luno olunene, poliisi evuddeyo n’erabula abazadde abalina abaana abakulu naye nga bali mu mizigo okugira nga bavudde ku by’okwegatta mu kifo ky’okubakabawaza.

Omukwanaganya wa poliisi n’omuntu wa bulijjo  ku Kasanje Police Station Ambrose Mugyenyi ategeezezza nti mu kiseera kino, abamu ku bazadde abasula mu mizigo nga tebalina bifo byekusifu oba ebisange kiba kikyamu okwenyigira mu nsonga z’ekikulu ng’emirundi mingi abaana babawulira nabo ne batandika ensonga ze zimu ate ku bato bannaabwe.

Mugyenyi owa poliisi n'omuntu wa bulijjo ku Kasanje Poliisi ng'asomesa.

Mugyenyi yagambye nti abazadde bangi okusingira ddala abakozesa ebitamiiza abasalawo okwesanyusa mu nsonga zino ez’ekikulu nga tebafuddeeyo oba abaana balaba oba bawulira kye yategeezezza nti y’emu ku nsonga eziviirako abaana okwonooneka nga bakyali bato. Ono asabye abazadde abali mu mizigo nga tebalina bbanga limala kwenyigira mu nsonga zino ng’abaana tebabawulira okugira nga beerekereza mu kifo ky’okwesittaza abaana baabwe n’okubakabawaza,” Mugyenyi bwe yategeezezza.

Bino byatuukiddwako mu lusiisira lw’amateeka olw’ategekeddwa akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso disitulikiti ku kitebe kya Kasanje ttawuni kkanso.

Mu nsonga eno, Poliisi yakwataganye n’ebitongole by’obwannakyewa ssaako abakulembeze mu ttawuni kkanso nga baavuddeyo ne balabula abazadde abalina omuze gw’okukuumira obutambi  bw’obuseegu mu masimu gaabwe wamu n’okukola  ebikolwa eby’ekikulu ng’abaana bawulire nti kino kye kisinze okwongera omuze gw’abaana okutandika okwetaba mu bikolwa eby’ekikaba nga bakyali bato.

Abakulembeze ku lukiiko lwa Kasanje TC nga bakulembeddwamu kkansala Busuulwa Fred Musansala bagamba nti waliwo enjawulo ey’amaanyi bukyanga akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso kavaayo okusomesa abantu ku ddembe lyabwe era ne basaba emisomo gino okweyongera okukira ddala ku byalo.

Wabula mu mbeera eno, Irene Namyalo okuva mu kitongole kya REDEEM INTERNATIONAL abaakuliddemu enteekateeka y’okusomesa abantu amateeka wamu n’eddembe lyabwe agamba nti baakizudde nga wakyaliwo ensonga nyingi ezisomooza abantu mu kitundu kino wabula ng’eky’ennaku abantu tebajjumbira misomo gino egiretebwa mu bitundu byabwe nnewankubadde gibeera gya bwerere.

Abaaamu ku batuuze abeetabye mu musomo.
Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!