Katikkiro akaayuukidde abo abaagala okukozesa eby’obufuzi okwawulayawula mu Baganda, n’agamba nti ekyo ki kafuuwe amaanyi ga Abaganda gali mu kunyweza Namulondo, okukola ennyo n’obunyiikivu.
96yr-Old-Reverend Who Survived NRA Rebels Twice Celebrates 70 Years in Holy Matrimony
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Buganda okwewala okwekubagiza basitukiremu beerwaneko nga bakola olwo Buganda lw’enaasobola okutuuka ku ntikko.
Kamalabyonna okwogera bino asinzidde Lugazi mu Kkereziya ya Queen Mary of Peace, mu kusaba okw’amazuukira ga Kristo, n’ategeeza nti ensonga enkulu eyali mu nkola y’ettoffaali kwe kusisimula abantu ba Buganda babeeko bye bakola bagobe obwavu, bave mu kulinda okuweebwa n’okwetuulako. Agambye nti ne mu masinzizo essaala zokka tezikulaakulanya kkeleziya wabula abagoberezi ba Kristu balina okubaako kye bawaayo e kkeleziya yeekulaakulanye.

Katikkiro akaayuukidde abo abaagala okukozesa eby’obufuzi okwawulayawula mu Baganda, n’agamba nti ekyo ki kafuuwe amaanyi ga Abaganda gali mu kunyweza Namulondo, okukola ennyo n’obunyiikivu.
Ekitambiro kya mmisa kikulembeddwamu omusumba w’Essaza ly’e Lugazi, Christopher Kakooza, nga mu kuyigiriza, annyonnyodde amakulu ga Ppaasika g’agambye nti gatutegeeza kwezza buggya mu mbeera zaffe omuli; enneeyisa n’okunoonya Katonda.

Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaggwe, Ssekiboobo Vincent Matovu Bintubizibu, yeebazizza enkolagana ennungi eriwo wakati w’essaza ly’akulembera n’essaza lya Kkereziya ery’e Lugazi. Ssekiboobo ategeezezza nti amazuukira ga Kristu gabajjukiza ebirungi enfaafa Ssaabasajja Kabaka by’abakoledde nga Bannakyaggwe, omuli; okubazimbira eddwaliro e Nnyenga okugonjoola ebizibu ebyekuusa ku by’obulamu, nga n’eby’enjigiriza tebirekeddwa bbali olwa nnassale ya Ssekiboobo eyatandikibwawo okusomesa emiti emito.

Abakirisitu mu lutikko eno batonedde Ssaabasajja ekirabo ky’anaasiima gafuuke Amakula.
Okusinziira ku byafaayo bya lutikko eno, entebe y’omusumba gyatuulako mu kkeleziya eno, yawebwayo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.