Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika acoomedde abatuuze ku mwalo gw’e Gulwe mu ggombolola y’e Bussi ababadde bakyakalambidde nga bagaanye okukkiriza omwalo guno okuzimbibwako ekifo awanatuukirwa ekidyeri.
Okusinziira ku ssentebe Bwanika, gavumenti ng’eruubirira okutumbula eby’entambula wakati w’ekizinga kino ng’ekigatta ku lukalu, yabawa ekidyeri wadde ng’ate eby’embi waliwo abantu abasimbidde enteekateeka eno ekkuuli b’agambye nti kye bakola kikyamu.
Bino ssentebe abituuseeko bw’abadde mu nsisinkano n’abatuuze bano ku kyalo Gulwe okulaba engeri bwe bagenda okukulaakulanyaamu ekifo nga gye buvuddeko ekitongole kya Solargen nga bali wamu ne gavumenti baakwatagana okulaba nga bazimba ekifo kino okuyambako mu by’entambula.
Wabula Bwanika kyamuweddeko okuwulira nga waliwo abantu be baamutegeezezza nti bazze basimbira ekkuuli enteekateeka eno kyokka nga n’eby’embi abasinga ku bano kyenkana baazimba mu kibangirizi kya nnyanja sso nga baagala kusooka kuliyirirwa ky’agamba nti ssi kituufu. Ku basimbidde enteekateeka eno ekkuuli nga bagamba nti nga tebannavaawo balina kusooka kubaliyirira olwo omulimu gw’okuzimba ekifo ewanaasimbanga ekidyeri gulyoke gugende mu maaso mwe muli n’ekkanisa ya Bbuggwe Christian Faith Church.
Bwanika era yasambazze ebibadde byogerwa abatuuze nti wandibaawo abantu abaagala okulya ssente gavumenti ze yateekawo okuliyirira abantu abali mu kifo ewagenda okuzimbibwa ewanaagoba ekidyeri ng’ono amuyise kalebule ataliiko mutwe na magulu kuba gavumenti teriiko nsimbi zonna ze yataddewo kuliyirira bantu ate abaazimba mu nnyanja!
Ssentebe w’eggombolola y’e Bussi, Charles Mukalazi Ssenkandwa yagambye nti mu kiseera kino, emirimu egisinga gifudde mu ggombolola olw’entabula okuba enzibu nga bangi ku bakozi ba gavumenti beesindika mu bizinga eno batya okugendayo olw’embeera y’entabula enzibu.
Esao Mpoza nga y’akulira eby’entobazi mu Wakiso alabudde abantu abakyasagira mu nsonga y’okuzimba okumpi n’ennyanja ky’agambye nti bangi bazzenga babalabula naye nga balinga abaateeka ppamba mu matu ekibaviriddeko okufiirwa ebintu byabwe wamu n’okulugulamu obulamu n’okufiirwa ebintu naddala ennyanja nga bw’ezzenga ebooga n’egenda ng’erya ebintu by’abantu ababeera n’okukolera okumpi nayo.