Canon Paul Luzinda n'abalabirizi.

Canon Eria Paul Luzinda Awezezza Emyaka 98-Yeebazizza Katonda Olw’okumuwangaaza

Omuweereza wa Katonda, Rev. Canon Eria Paul Luzinda akoonodde emyaka 98 egy’obukulu ne yeebaza Katonda amuwangaazizza n’amulabya ku baana, abaana b’abaana n’ab’abazzukulu.

Canon Luzinda asinzidde mu kusaba okw’okwebaza okutegekeddwa mu kkanisa ya All Apostles Church of Uganda e Wattuba mu busumba bw’e Kawanda mu disitulikiti y’e Wakiso. Omulabirizi w’e Mityana, Bp. Dr. James Bukomeko Ssaalongo y’akulembeddemu okusaba kuno.

Bp. Bukomeko atenderezza Canon Luzinda olw’obuweereza Katonda bw’amusobozesezza n’asobola okusumba endiga za Katonda nga teyeebalira.

Bp. Bukomeko mu kuyigiriza akyukidde abazadde n’abanenya olw’obutafaayo mu kukuza abaana nga bamanyi Katonda n’agamba nti eno y’esonga lwaki buli lukya ebikolwa eby’ettemu byeyongera okwegiriisiza mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

“Abatemula bantu bannaabwe baana baffe be tuzaala. Kino kivudde ku bazadde  esangi zino abatayagala kubagambira ku baana nga kati buli muntu afa ku gw’azadde ekireseewo omulembe gw’abavubuka ba nnantagambwako abatuuse n’obutateeka kitiibwa mu bulamu bw’abantu kwossa nabakulu ababasinga mu myaka,” omulabirizi Bukomeko bwe yategeezezza.

Canon Eria Paul Luzinda ng’ayogera.

Bishop Bukomeko era yasabye abazadde okuyambako abaana  baabwe okussa ekitiibwa mu bufumbo basobole okwewala obufumbo bwa kawundo kakubye eddirisa bwe yagamba nti y’ensibuko y’obutabanguko mu maka.

Omulabirizi w’e Namirembe, Bp. Moses Banja yasiimye Canon Eria Paul Luzinda olw’okukuuma ekitiibwa ky’obuweereza bwa Katonda n’okutendeka abaweereza abawera abasobodde okuyitirako mu mikono gye.

Priest Stranded With Entebbe-Based 17-Year-Old Dumb Girl

Ate ye ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika ku lw’abakulembeze yalaze okwennyamira olw’omulembe oguliwo ogutassa kitiibwa mu bantu abakulu nga kye kimu ku biviiriddeko ne Bannayuganda obutawangaala ng’abavubuka abandiyambyeko bakadde baabwe ate ebintu babikola kifuulannenge.

Ye omujaguza, Rev Canon Eria Paul Luzinda yasiimye omutonzi amusobozesezza okutuuka ku myaka 98 n’agamba nti mumativu ne byonna Katonda by’amukozesezza.

Emikolo gyetabiddwako abalabirizi abawera okuli; Omulabirizi wa Central Buganda eyawummula Bishop Jackson Matovu, Bishop James William Ssebaggala ne Bishop Eria Paul Luzinda Kizito ab’e Mukono abaawummula.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!