Bp. Enos Kitto Kagodo ow'e Mukono, Ssaabalabirizi Kazimba, Bp. Eria Paul Luzinda Kizito n'abalabirizi abalala nga baganzika ekimuli ku ssanduuko.

Bp. Ssenyimba Abadde wa Mugaso Nnyo Eri Obwakabaka Bwa Buganda-Kabaka

6 minutes, 18 seconds Read

Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II yakungubagidde musajjawe, Omubalirizi w’e Mukono ow’okubiri eyawummula, Michael Solomon Ndawula Ssenyimba eyaseeredde.

Kabaka mu bubakabwe bwe yatisse Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, yagambye nti Bp. Ssenyimba abadde mpagi sseddugge, ow’enkizo si mu buweereza bwa ddiini yokka oba mu kisaawe ky’eby’enjigiriza wabula ne mu kusitula ennono n’obuwangwa bwa Buganda, mu kaweefube w’okulafuubana okulaba nga Buganda edda ku ntikko.

“Tubeegattako, okukungubagira omuntu abadde ow’enkizo eri Nnamulondo n’obwa Kabaka, emyaka 28 egiyise, nnayita Bp. Ssenyimba n’abantu abalala abatono ne tutandika ekitongole kya Kabaka Foundation, okuva olwo, tutambudde naye mu mirimu gy’ekitongole gyonna, era nga y’akubiriza olukiiko lw’abayima b’ekitongole, bwe mba nga ssisobodde.

Alese eddibu ddene mu Kabaka Foundation, abadde amanyi ebintu bingi ebikwata ku mpisa, ennono n’obuwangwa, era nga tumwebuzaako emirundi mingi. Mu ngeri eyo, yakulemberamu bulungi omulimu gw’okuddaabiriza amasiro g’e Wamala, ekyo kyalaga nti assa ekitiibwa mu buwangwa bwe, era yeenyumiriza mu buzaale bwe ng’Omulangira.

Bp. Ssenyimba tubadde tumwenyumirizaamu nnyo olw’ebitone by’abadde nabyo nga mulimu obumanyi, obukozi, obuwulize, obwesimbu n’emmizi, tumusaaliddwa nnyo. Twebaza Katonda olw’obulamu bwe, olw’ebirungi by’amukozesezza mu nsi,” ekitundu mu bubaka bwa Kabaka bwe kyasomye.

Mu bubaka bwe nga Katikkiro, yagambye nti wadde Kabaka ebbanga lyonna efunvubidde okukulemberamu Abaganda ne Bannayuganda okutwalira awamu okulaba nga bakola buli kisoboka okutwala Buganda ku ntikko ng’ayita mu kukunga abantu okubeera abalamu obulungi, okusomesa abaana, okukola okwejja mu bwavu, okukuuma obutonde bw’ensi n’ebirala, kino kikyali kizibu okutuukako olw’abayizi abalowooza nti okussa mu nkola n’okuwagira obuwangwa n’ennono kya sitaani.

Ab’ebitiibwa okuva mu Bwakabaka bwa Buganda nga bakulembeddwa omumyuka wa Katikkiro Robert Wagwa Nsibirwa nga bateeka bendera ya Buganda ku ssanduuko.

“Omulabirizi Ssenyimba abadde muyivu bulungi, naye ng’amanyi era ng’awa ekitiibwa eby’obuwangwa n’ennono. Naye tulina abayivu bangi abaabula kubanga bwe babanguka mu by’abagwira, ebyabwe nga babyesulubabba, oluusi nga babyekwekera ddala. N’otuuka okwebuuza nti ono yasomeraki?” Katikkiro bwe yeebuuzizza n’agattako nti;

“Bp. Michael Ssenyimba, gye yakoma okubanguka, n’okukuguka, ate gye yakoma okutegeera obwetaavu obw’okuzza Buganda ku ntikko. Nsaba abakuguse mu by’okusoma, abakulembeze ab’eddiini, n’ab’ensi, n’abo bonna abalina obuvunaanyizibwa obw’enjawulo, mwenna mbasaba mwettanire enteekateeka z’obwa Kabaka nga Bp. Ssenyimba bw’akoze. Tosobola kuba ng’olina ddiguli mukaaga naye Kabaka n’obuwangwa ne bikulema okutegeera, awo oba mugyega! Era bwe nkujerega n’onyiiga oba onyiigidde bwereere!”

Bp. Ssenyimba yaziikiddwa ku Lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya ku kitebe ky’obulabirizi bw’e Mukono obukulemberwa mu kiseera kino, Bp. Enos Kitto Kagodo, ng’okusaba okwakulembedde okuziika kwakulembeddwa Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu nga kwetabiddwako abalabirizi abakyaweereza n’abawummula bangi ddala.

Baategeezezza nti ekyamuviiriddeko okufa kyavudde ku mutima ogubadde gwanafuwa ate ng’alina n’ekirwadde kya ppuleesa n’endwadde endala ez’obukadde ezibadde zimubala embiriizi.

Mu bubaka bwe, Ssaabalabirizi Kazimba yatederezza musajja wa Katonda Bp. Ssenyimba ng’abadde omusajja ow’amaanyi era enjasabiggu akozesezza ebitone bye byonna Katonda by’amuwadde ku nsi.

RDC Ndisaba n’eyali omubaka wa Mukono South mu palamenti, Johnson Muyanja Ssenyonga nga baganzika ekimuli ku ssanduuko.

Kazimba yagambye nti mu bulamu, Ssenyimba yayogera nga bw’atalina kifo kye yagendamu ne batasooka kumusimbira kkuuli wabula mbu ng’oluvannyuma lw’okukola obuweereza ng’amaliriza bamwagadde.

Yamutenderezza olw’obuteegulumiza nti wadde yali asomye ng’afuuse Ppulofeesa ng’akuguse mu by’omuddo, bwe yawulira eddoozi lya Katonda ng’amuyise ate afuuke omusumba w’endiga ze, teyeekuluntaza yakkiriza okuweereza mu bulambulukufu ng’essira yaliteeka nnyo ku bwerufu naddala bwe yali omulabirizi w’e Mukono nga yadda mu bigere bya Bp. Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo eyali asuumusiddwa ng’alinnye eddaala okufuuka Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda.

Kazimba yavumiridde obwa mawale obusitudde enkundi mu kkanisa ya Uganda nga buva mu Bakulisitaayo abalonda abakiise ku nkiiko z’obulabirizi eza ssinodi nga babasindiseeyo kusimbira nsonga za njawulo makuuli.

Yagambye nti wadde embeera eno yeeyolese nnyo mu kiseera kino, naye naye tanywa guteeka ago amakuuli asobodde okugasimbula.

Bp. Ssenyimba yafuuka omulabirizi w’e Mukono wakati w’omwaka 1995 n’aweereza okutuuka mu 2002, ng’era okuva wano teyawummula wabula ate yagenda n’afuuka omumyuka wa cansala wa yunivasite ya Ndejje. Ono w’afiiridde ng’aweza emyaka 87 egy’obukulu.

“Wadde tutendereza Bp. Ssenyimba okuleetawo enjawulo mu bulabirizi bw’e Mukono omuli okuzimba amasomero n’ebirala, naye ate obuweereza bwe yakola e Mukono tebwenkana obwo bwe yakola ku Ndejje University, ekyo nno tukimwebaliza,” Kazimba bwe yategeezezza.

Ssenyimba yaziikiddwa ku Lutikko e Mukono okumpi n’ewaziikibwa mukyalawe eyasooka, Agatha Ssenyimba. Okuziika kwetabiddwako ebikonge okusingira ddala okuva mu Bwakabaka bwa Buganda, nga byakulembeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, omumyukawe, Robert Wagwa Nsibirwa, Ssaabawolereza wa Buganda, Christopher Bwanika, Ssaabalangira Godfrey Kikulwe Musanje, ssenkulu wa Kabaka Foundation, Edward Kaggwa Ndagala n’abalala.

Ababaka ba palamenti, Stephen Sserubula owa munisipaali y’e Lugazi, Betty Nambooze owa Mukono, n’eyali omubaka Muyanja Ssenyonga nabo abeetabye mu kuziika.

Omugenzi alese bamulekwa okuli Catherine Ndagire Ssenyimba Ntaate, Dorcus Mugarura ne Miriam Mirembe Nakalema Mugayhwenkyi. Ntaate ku lwa banne, yagambye nti tebeevuma Katonda olw’okusalawo okuwummuza kitaabwe ng’ono yatuuse n’okutegeeza nti bbo beebaza bwebaza wabula tebalinga abalala abagamba nti Katonda abakubye omuggo.

Yalambuludde nti Ssenyimba ne nnyaabwe baabalaga era ne babakuliza mu Yesu ate ng’ebyo bye baabagambanga nga nabo bye bakola era baafuna omusingi omulungi y’ensonga lwaki tebeekubagiza na kwekubagiza Katonda bw’aba asazeewo okumujjulula.

Ye nnamwandu, Esther Nagginda Ssenyimba yategeezezza abakungubazi nti omulabirizi Ssenyimba ku kwagala Katonda we abadde azzaako okwagala Kabaka, Obwakabaka bwa Buganda ssaako Kabaka Foundation gy’aweerezzaako ebbanga eriweredde ddala.

Ate eyawadde obubaka ku lw’abalabirizi abava mu Buganda, omulabirizi wa Central Buganda, Michael Lubowa yagambye nti Bp. Ssenyimba abadde ayaayaanira nnyo era ng’ayagala nnyo emirembe mu kkanisa nga n’emirerembe egibaddewo mu kiseera ekiyise gibadde gimuyisiza ddala bubi nnyo.

Ku lwa gavumenti eya wakati, RDC w’e Mukono Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka naye yayogedde ku buweereza bwa Bp. Ssenyimba n’agamba nti ono yali musajja ateerya ntama ng’ate ng’alina omugongo ng’asalawo kw’ekyo ky’ayagala kikolebwe.

“Mu mulembe guno twesanze ng’abantu bwe basoma ennyo ate ne batuuka mu bifo eby’enkizo nga bwe yali, okusalawo kubafuukira ekizibu ne batuuka okutta aga n’aga, anti nga baagala okusanyusa buli omu. Nzijukira bwe yasikira Prof. Kironde, eyatandika Ndejje University ng’eby’obufuzi byali bingi era n’afuna okuwomoozebwa. Wabula wakati awo, yakola okusalawo okwalabibwa abalaba okumpi ng’okutali kutuufu naye ng’ate oluvannyuma yasiimibwa kuba yakyusa ettendekero ly’abasomesa erya Lady Irene e Ndejje n’aliggya mu bizimbe n’alisindika e Nakaseke olwo yunivasite n’egaziwa,” bwe yannyonnyodde.

Ndisaba era yagambye nti yayolesa nnyo obukugu bwe yasoosowaza eky’okutumbula amasomo ga ssaayansi nga n’okutuuka olwaleero gwe musingi Ndejje University kw’eyimiridde.

Oluvannyuma lw’ebyo byonna, Ssaabalabirizi Kazimba yakulembeddemu abalabirizi ne bafuluma ekkanisa olwo ne babawereekeza omubiri gw’omugenzi ne gutwalibwa mu luggya lw’ekkanisa ya Lutikko essaala ezaakulembedde okuziika ne zigenda mu maaso n’ekyaddiridde kuziika.

Obulabirizi bw’e Mukono bwatandikibwa mu mwaka gwa 1984, nga Ssaabalabirizi kati omugenzi, Luvingstone Mpalanyi Nkoyoyo ye yali omulabirizi eyasooka n’asikirwa Ssenyimba. Bp. Eria Paul Luzinda Kizito ye yali ow’okusatu, ng’ono ate yasikirwa Bp. James William Ssebaggala ng’oluvannyuma lw’okuwummula ate waddawo omulabirizi Enos Kitto Kagodo ng’ono enkasi y’obulabirizi yaakyagiri mu mitambo.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!