Chris Jamo, anyumya engeri David Lutalo ne Maro bwe baamubbako oluyimba

Mu mboozi n’omuytimbi Chris Jamo ekitundu eky’okubiri, ku Kyaggwe TV, omukutu oguli ku YouTube, mu program Art Talks, ono anyumya obulamu bwe obw’okuyimba omuli ensonga ez’enjawulo. Anyumya lwe yanywa ku njaga, ng’engeri gye yamuyisaamu, olwo lwe lwasooka era lwe lwasembayo. Ono era anyumya bwe yayimba oluyimba lwa Tonoba na byange, omuyimbi David Lutalo ne yeegatta […]

Ababadde Bagenda Okubala Abantu Bagudde ku Kabenje-Omu Amenyese Okugulu

BYA TONNY EVANS NGABO Abantu babiri be bapooca n’ebiwundu oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje bwe baabadde bakedde okugenda mu bifo gye baagabiddwa okukolera. Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza ku Lwokutaano, ekyatuumiddwa Census Night. Kyategeerekese nga bano baatomeddwa mmotoka ekika kya Canter etaategeerekese nnamba  bwe yayambalaganye ne lukululana  okukakana nga ebalubye ku mabbali g’ekubo gye baabadde batambulira […]

Maneja wa loogi akwatiddwa lwa kulemesa babala bantu-IPAD bbiri zibbiddwa

Ab’eby’okwerinda mu disitulikiti y’e Mukono nga nga bakulembeddwa RDC Hajjat Fatuma Ndisaba Nabitaka nga bali wamu n’abakola ku gw’okubala abantu mu disitulikiti ne munisipaali y’e Mukono baliko maneja wa loogi emu gwe bakutte n’atwalibwa ku poliisi e Mukono n’aggalirwa ng’avunaanibwa kulemesa nteekateeka ya kubala bantu mu kifo kino. Peace Namakula maneja wa Gofret Motel e […]

Katikkiro Atongozza Bboodi Y’eby’obulambuzi Ey’Obwakabaka bwa Buganda

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yatongozza bboodi y’eby’obulambuzi n’ennono ey’Obwakabaka bwa Buganda. Bboodi eno ekulemberwa Omuk. Benon Ntambi ng’ono amyukibwa Ssuuna Luutu. Bammemba abalala kuliko; Omuk Farouk Busuulwa, Claire Mugabi, Kaweesi Daniel, Kitenda John, Edirisa Luwangula, Jimmy Kigozi, Claire MugabiNamuyimbwa Allen, Ssebuggwawo Marvin ne Justine Naluzze Ssembajjwe. Katikkiro yategeezezza; “Ensi nnyingi ezifuna ensimbi nga […]

KITALO! Mutabani W’akulira Ettendekero Ly’Abasawo e Mulago Abadde Anoonyezebwa Asangiddwa mu Ggwanika nga Mufu!

KITALO! Mutabani W’akulira Ettendekero Ly’Abasawo e Mulago Abadde Anoonyezebwa Asangiddwa mu Ggwanika nga Mufu! Lawrence Ospene ow’emyaka 21 nga mutabani wa Dr. Felix Ocom akulira  ettendekero lya Mulago Institute of Public Health, y’asangiddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago. Kibadde kirowoozebwa nti Ospene yawambibwa abantu abatannategeerekeka kyokka kino si bwe kiri. Okusinziira ku bifaananyi bya kkamera […]

Kabaka Ali Bweru Afuna Bujjanjabi-Katikkiro

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ategeezezza Obuganda nti Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II ali bweru ggwanga gye yagenda okufuna obujjanjabi.  Katikkiro ategeezezza nti Nga March 21, 2024, Kabaka yagenda ebweru w’eggwanga okufuna obujjanjabi wabula ng’embeera y’obulamu bwe tennamusobozesa kukomawo kuba abasawo be bakyetaaga okumwetegereza engeri omubiri gye gutambuliramu ku bujjanjabi obumuweebwa. Bino […]

Embeera Y’omubaka Ssegirinya Eyongedde Okweraliikiriza!

Embeera y’omubaka wa palamenti Muhammad Ssegirinya eyongedde okutabuka ekyeraliikirizza ennyo abawagizibe ne Bannayuganda bonna okutwalira awamu. Bano basabye abakulembeze mu kibiina kye ekya NUP ne Palamenti ya Uganda okukola kyonna ekisoboka okulaba nga bayamba ku ffamire ye okusobola okulaba ng’obulamu bwe butaakirizibwa. Ssegirinya ali mu ddwaliro lya Agha Khan e Kenya gy’amaze akaseera ng’ajjanjabibwa ebirwadde […]

Katikkiro Alambudde Ebitongole By’Obwakabaka N’akunga Abakozi ku Bwerufu

BYA BRENDA NANZIRI Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alambudde ebitongole by’Obwakabaka ebikakkalabiza emirimu gyabyo ku kizimbe kya Muganzirwazza e Katwe mu kibuga Kabaka eky’e Kampala. Mu bitongole Katikkiro by’alambudde kuliko, Weerinde Insurance Brokerage Services Ltd, K2 Telecom, Namulondo Investment Ltd, ne Mmwanyi Terimba Ltd. Okulambula kuno kugendereddwamu okumanya abakozi abaddukanya emirimu  gy’ebitongole bino, n’okwongera […]

Provost wa Lutikko e Mukono Akunze Ab’amawulire Okugenda mu Maaso N’okwanika Abanene mu Gov’t Abava ku Mulamwa

Buli May 3, lwe lunaku lw’eddembe ly’ab’amawulire olw’ensi yonna. Mu mbeera eyo, ab’amawulire abakakkalabiza emirimu gyabwe mu mikutu egy’enjawulo nga basinziira mu bbendobendo ly’e Mukono beegasse ku bannaabwe okukuza olunaku luno. Bano bakungaanidde ku lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya mu kibuga Mukono mu kusaba okukulembeddwa Provost wa Lutikko eno, Godfrey Ssengendo ng’ayambibwako Vviika wa Lutikko, […]

Poliisi Ekutte Sandra Akola Obwa Malaaya e Kireka Asobezza ku Kalenzi ka P.5

Poliisi e Kireka mu munisipaali y’e Kira ekutte n’eggalira omukazi agambibwa okuba malaaya eyakkakkanye ku muyizi omulenzi owa P.5 n’amusobyako.  Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango ategeezezza nga poliisi bwe yakutte Sandra Lokot atemera mu gy’obukulu 28 omutuuze w’e Kireka Zone B ng’ono avunaanibwa kwekakaatika ku kalenzi ak’emyaka 15 egy’obukulu n’akakaka akaboozi ak’ekikulu. […]

error: Content is protected !!