BYA ABU BATUUSA Empologoma ya Buganda, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’agabula ab’Olulyo Olulangira ng’akabonero ak’obumu n’okwongera okumanyagana mu lulyo luno. Bino byabadde mu ttabamiruka waabwe ow’omulundi ogw’omukaaga awamu n’okubanjulira ebiteeredwawo mu nteekateeka y’okukulaakulanya Olulyo Olulangira mu Buganda. Omukolo guno gwayindidde mu Lubiri lwa Ssekabaka Mawanda e Sserinya mu Gombolola y’e Mmende mu […]
Nga tusemberedde okutuuka ku mazaalibwa g’Omulokozi Yezu Kristo wamu n’ebikujjuko ebiggalawo omwaka, ab’eby’obulamu mu disitulikiti y’e Wakiso balabudde Bannayuganda nga bwe beetegekera ebikujjuko bino, okubeera obwelinde ku nsonga y’ekirwadde kya MPOX eky’eyongedde okuwanika amatanga. Abasawo bagamba nti mu kiseera kino, abantu abakunukkiriza mu lukumi (1000) be baakakwatibwa ekirwadde kino mu Uganda yonna nga mu disitulikiti […]
Abasuubuzi abakolera mu katale k’e Kajjansi mu disitulikiti y’e Wakiso ababadde bamaze ebanga erisoba mu myaka ebiri bukyanga akatale kano kookebwa omuliro bafunye ku kaseko ku matama bwe kazzeemu okuggulwawo. Bano bagamba nti balina essuubi nti bagenda kufuna ku nsimbi mu ssizoni y’ennaku enkulu eyatandise edda oluvannyuma lwa ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia […]
Ekikangabwa kigudde ku ssomero lya St. Thereza Namilyango Girls Boarding Primary School erisangibwa ku kyalo Namilyango mu divizoni y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono omu ku bakozi ku ffaamu y’essomero omukwano bwe gumulinnye ku jjoba n’atemaatema mmaneja wa ffaamu eno ng’amulanga kumukyawa. Henry Ssabakaaki y’agambibwa okufuna obutakkaanya n’abadde muninkiniwe era mmaneja wa ffaamu y’essomero, Maurine […]
Nga Bannayuganda bali mu keetereekerero k’okuyingira mu ggandaalo ly’ennaku enkulu omuli Christmas n’okumalako omwaka, bangi ku bazze batereka ensimbi mu bibiina eby’enjawulo buno bwe budde obw’okugabana ku kasimbi kaabwe. Mu mbeera eyo, bammemba mu kibiina kya One Family Development Saccolibadde ssanyu jjereere gye bali abakulu abakulembera ekibiina kino bwe babayise ku kabaga akamalako omwaka ne […]
Ekikangabwa kibuutikidde ekyalo Kijabijo C mu muluka gw’e Kimwanyi mu Kira Division ne batta omukuumi w’oku bbaala. Ekikangabwa kino kyaguddewo mu kiro ekikeesezza olwa leero. Kigambibwa nti abatuuze basuze ku tebuukye oluvannyuma lw’ababbi okulumba ekyalo mu kiro ekikeeseza olwa leero ne banyaga Supermarket emanyiddwa nga A and W Shoppers Supermarket oluvannyuma ne balumba ebbaala ya […]
Obuganda buguddemu ekikangwabwa oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’omukulu w’ekika ky’Emmamba, Gabunga Mubiru Ziikwa owa 37. Okusinziira ku nsonda enneekusifu, Gabunga yafiiridde mu ddwaliro e Lubaga mu kiro ekikeesezza ku Ssande ku ssaawa nnya. N’okutuusa essaawa eno, omubiri gw’omugenzi gukyali mu ggwanika ly’eddwaliro lino ng’abakulu mu kika bwe bakwatagana n’Obwakabaka bwa Buganda okulaba enteekateeka z’okutereka omubiri […]
Ekivvulu kya Nyege Nyege ekibeera e Jinja buli mwaka buli lukya kyongera okukyusa enkuba, buli mwaka oguyitawo kijja na nkuba mpya. Eky’omwaka guno ate wamma kibadde kikambwe, abadigize basula batunula nga bazina, kunywa na kulya. Olwaleero lunaku lwa kusatu bukyanga kitandika naye baaba. Abaliyo tebayoya kudda waka. Abadigize okuva mu mawanga ag’enjawulo, abaddugavu n’abazungu bonna […]
Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaggwe, Ssekiboobo Vincent Matovu Bintubizibu atenderezza omukulu w’essomero lya St. Balikuddembe S.S Kisoga, Lydia Lukwago Kagoya olw’omulimu ogw’amaanyi gw’akoze mu ssomero lino emyaka emitono gye yaakamala ng’omukulu waalyo. Ssekiboobo agamba nti nga Munnakyaggwe amaze emyaka mu kitundu kino, mu myaka egikunukkiriza mu 30 essomero lino gye limaze abadde aliraba […]
Kkooti ya Buganda Road etanzizza, omuvuzi wa Subaru Isaac Mukwaya eyalabikira mu katambi akaabuna omutimbagano ng’agezaako okutomera omuserikale wa Poliisi y’ebidduka engassi ya mitwalo gya Uganda 60. Mukwaya okusingisibwa omusango gw’okuvugisa ekimama kiddiridde ye kennyini okugumusomera wabula n’atayonoona budde bwa kkooti n’agukkiriza. Bw’atyo omulamuzi agumusingisizza ng’asinziira ku ye kennyini okukkiriza okugukkiriza. Oluvannyuma omulamuzi Mukwaya amuwadde […]
