Kkooti ya Buganda Road etanzizza, omuvuzi wa Subaru Isaac Mukwaya eyalabikira mu katambi akaabuna omutimbagano ng’agezaako okutomera omuserikale wa Poliisi y’ebidduka engassi ya mitwalo gya Uganda 60.
Mukwaya okusingisibwa omusango gw’okuvugisa ekimama kiddiridde ye kennyini okugumusomera wabula n’atayonoona budde bwa kkooti n’agukkiriza. Bw’atyo omulamuzi agumusingisizza ng’asinziira ku ye kennyini okukkiriza okugukkiriza.
Oluvannyuma omulamuzi Mukwaya amuwadde ekibonerezo kya kusasula engassi ya mitwalo gya Uganda 60. Mukwaya omusango yaguzza mwaka guwedde ng’ali mu mmotoka ekika kya Subaru.
Police Shoot One Dead, Two Arrested During the Rescue of Kidnapped Egyptian Diplomat