Amasomero Gapaaluusizza Ffiizi Ku Bagenda mu S5-Agamu Gasabye Obukadde Busatu

Oluvanyuma lw’okusunsula abayizi abagenda mu S5 okuggwa, agamu ku masomero amagundiivu gafulumizza ebisale kwe gagenda okuyingiriza abayizi mu S5. Wabula ebisale bino birese bangi nga bakutte ku mimwa, n’abamu tebamanyi oba abaana baabwe banaasobola okusoma olw’embeera y’eby’enfuna eya kanaayokya ani egenda mu maaso mu ggwanga. Mu masomero agasinze okupaluusa ebisale g’ego agali mu masekkati g’eggwanga, […]

Amasomero Gapaaluusizza Ffiizi Ku Bagenda mu S5-Agamu Gasabye Obukadde Busatu

Oluvanyuma lw’okusunsula abayizi abagenda mu S5 okuggwa, agamu ku masomero amagundiivu gafulumizza ebisale kwe gagenda okuyingiriza abayizi mu S5. Wabula ebisale bino birese bangi nga bakutte ku mimwa, n’abamu tebamanyi oba abaana baabwe banaasobola okusoma olw’embeera y’eby’enfuna eya kanaayokya ani egenda mu maaso mu ggwanga. Mu masomero agasinze okupaluusa ebisale g’ego agali mu masekkati g’eggwanga, […]

Ssentebe wa Disitulikiti Akangudde ku Ddoboozi Eri Abazadde Abatayagala Kuweerera Baana

Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika akangudde ku ddoboozi n’ayambalira abazadde abawangaalira ku bizinga ne ku myalo olw’okwesuulirangayo ogwa nnaggamba ku nsonga y’okuwerera abaana bbo bennyini be beezaalira nga bwe bawooza kimu nti gavumenti yabagoba ku nnyanja. Bwanika yasinzidde ku ssomero lya World’s Light Junior School e Bwerenga mu ttawuni kkanso y’e […]

Owa Maama Akola Mu Katale e Mukono Ayitidde Waggulu Ebya S4

Blick Ssemwanga omuyizi ku St. Andrews Secondary and Vocational School e Nakisunga mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono yayise ebya S4 era yeesunga kusoma kufuuka ddokita. Ssemwanga mutabani wa Florence Nantongo akolera mu katale ka Kame Valley e Mukono ng’atunda bikozesebwa mu kusoma ne Kennedy Kiganda ab’e Nabuti mu munisipaali y’e Mukono. Yafunye […]

Abakulu B’amasomero Balabuddwa Obutakemebwa Kumma Bayizi Bigezo

Bya Wilberforce Kawere Ng’abayizi ba S.4 olwa leero batandise okukola ebigezo eby’akamalirizo okwetoloola eggwanga, wofiisi y’omubaka wa gavumenti atuula e Mukono erabudde abaddukanya amasomero obutetantala kugaana muyizi yenna kutuula bigezo ng’ensonga eweebwa y’e y’okubanjibwa ebisale by’essomero. Amyuka omubaka wa gavumenti atuula mu kibuga Mukono era atwala eby’okwerinda mu kitundu kino Rhoda Tiitwe Kagaaga ategeezezza nti […]

Abakulira Amasomero Bakyemulugunya ku Nsomesa Empya Aba S4 Gye Bagenda Okukoleramu Ebigezo

Bya WilberForce Kawere Ng’ebigezo by’akamalirizo eby’ekitongole ekya UNEB bitandise olunaku olwa leero ku mutendera gwa S4, n’okubuulirira abayizi n’okubayisa mu biki bye balina okugoberera ebbanga lye bagenda okumala nga bakola ebigezo, eriyo abakulu b’amasomero abawadde endowooza zaabwe ku nsomesa empya amanyiddwa nga New O Level Competence Base Curriculum ng’abayizi bano bye bigezo bye bagenda okukola. […]

Mgrs. Kayondo Asabidde Abagenda Okukola Ebya UNEB ku Ssomero lya St. Francis Borgia

Bya Kawere Wilberforce Eklezia katolika yennyamidde olw’obusiwuufu bw’empisa obweyongera mu baana buli lukya. Ng’akulembeddemu mmisa ey’okusabira abayizi abateekebwateekebwa okukola ebigezo eby’akamalirizo okuli aba P.7, S.4 ne S.6 okuva mu masomero ag’enjawulo nga bakungaanidde ku St. Francis Borgia High School e Buguju mu kibuga Mukono, omubeezi w’omusumba atwala essaza ly’e Lugazi, Msgr. Dr. Richard Kayondo asabye abazadde […]

Disitulikiti Y’e Wakiso Etandise ku Nteekateeka Z’okukulaakulanya Omwalo Gw’e Bugiri

Bya Tonny Evans Ngabo Disitulikiti y’e Wakiso etandise okukola ku nteekateeka z’okukulaakulanya  omwalo gw’e Bugiri ogusangibwa mu ttawuni kkanso y’e Katabi mu kibuga ky’Entebbe. Abakulu okuva ku disitulikiti we batuukidde okuvaayo ng’ettaka lyabwe kyenkana  linaatera okugwawo  nga litwalibwa bakyalakimpadde abaatandika edda  okwegabirako ppoloti ne beefuniramu emusimbi. Mother Mary Kevin Kearney: The Story Behind the Total […]

Rev. Kaggwa Alabudde Abayizi N’abasomesa ku Kubba Ebigezo N’okweraguza

Bya Wilberforce Kawere Omusumba w’e Nakifuma mu Bulabirizi obw’e Mukono, Rev. David Kaggwa acoomedde abazadde abayingiza abayizi ababeera bagenda okukola ebigezo eby’akamalirizzo mu bikolwa eby’okweraguza n’ekigendererwa eky’okuyita obulungi ebigezo. Rev. Kaggwa agambye nti kino kikyamu era ekikontanira ddala n’ennono za Katonda. Bino Omusumba abyogeredde ku ssomero ly’ekkanisa ya Uganda era eriyambibwako gavumenti erya Nakanyonyi S.S erisangibwa […]

Obulabirizi Bugaanye Omukulu W’essomero Minisitule Gwe Yabusindikidde

Obulabirizi bw’e Mukono bugaanye era ne bugoba omukulu w’essomero omuggya agambibwa nti minisitule y’eby’enjigiriza gwe yasindise okudda mu bigere by’akulira essomero lya Mukono High School ng’ono yatuusizza emyaka egiwummula emirimu gya gavumenti. Fredrick Kawumi Mbaziira ye mukulu w’essomero lya Mukono High School aliwo mu kiseera kino ng’ate minisitule gwe yabadde asindiseeyo ye Richard Katongole ng’ono […]

error: Content is protected !!