Akaasammeeme Mu Baagala Okukwatira NRM Bendera e Mukono-Baabano Abasuze Nga Bakukunadde!

Nakabaale atutegeezezza nti okulonda kuno kugenda kubeera ku buli kyalo kw’ebyo 610 ebikola disitulikiti y’e Mukono ng’abantu bagenda kulonda abeesimbyewo abaagala okukwatira NRM bendera ku bifo by’ababaka ba palamenti mu kkonsituwensi ez’enjawulo. Ng’ebula ssaawa busaawa okulonda kw’abanaakwata bendera z’ekibiina kya NRM ku bifo eby’enjawulo eby’ababaka ba palamenti kubeerewo olunaku olw’enkya ku Lwokuna nga July 17, […]

Effujjo mu Kampeyini za NRM: Tanga Odoi Ayimirizza Omu ku Bavuganya Ku Ky’obubaka Bwa Palamenti

Munna NRM agudde ku kyokya ye Marvin Mugisha ng’ono alagiddwa okuyimiriza mbagirawo enteekateeka z’okunoonya obuwagizi okutuusa ng’avuddeyo n’awaayo okwewozaako kwe. Oluvannyuma lw’ebbanga ng’aby’okwerinda mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo basomeddwa eky’okuzzaako olwa Bannakibiina kya NRM abasusse okukola ebibinja by’abavubuka abakola effujjo ku bannaabwe nga banoonya obululu, ebyakazibwako eggaali, akulira akakiiko k’eby’okulonda mu NRM, Dr. Tanga Odoi akambuwadde. […]

Dr. Lulume, Erias Lukwago Bagudde mu Bintu mu Kibiina Kya Dr. Besigye

Dr. Lulume ne banne balondeddwa mu ttabamiruka w’ekibiina atudde okukitongoza olwa leero ku Lwokubiri nga July 8, 2025 ku kitebe kyakyo ku Katonga Road mu kibuga Kampala. Nga ky’aggye ayabulire ekibiina kya DP yeesogge ekibiina kya People’s Front for Freedom (PFF) ekyatandikibwa Dr. Kizza Besigye ku Mmande, omubaka wa palamenti owa Buikwe South, Dr. Micheal […]

Agenda 2026: Kibuule Ayaniriziddwa nga Muzira mu Namawojjolo ne Walusubi

Musa Muwanika yategeezezza nti Kibuule yali yabamanyiiza okubalambulangako nga ne bwe babeera n’eby’etaago nga bamukubirako oba okugenda ewuwe ne bamubimutegeeza kyokka ng’emyaka gino okuva lwe baamuggya mu palamenti, omubaka eyalondebwa tabasuuliranga ku mwoyo kugendako gye bali kufuna birowoozo byabwe. Eyaliko omubaka wa palamenti owa Mukono North, Ronald Kibuule abantu bamulaze nti ebbanga ery’emyaka egigenda mw’etaano […]

Omuyimbi Stecia Mayanja Yeesozze Olwokaano Lw’ebyo’obufuzi Mu Kampala

Omuyimbi w’ennyimba za ‘band’ era ez’omukwano, Hajjat Stecia Mayanja alangiridde nga bwe yeesozze olwokaano lw’eby’obufuzi. Stecia Mayanja agamba nti ayagala kuvuganya ku kifo kya mubaka wa palamenti eky’omukyala akiikikirira ekibuga Kampala. “Kino si kirooto, bino byaddala,” Stecia bwe yategeezezza ng’ayita ku mukutu ku mugatta bantu ogwa Facebook. Stecia w’aviiriddeyo nga ky’aggye akole ekivvulu ekyasudde n’ennyenje […]

Omukungu wa FUFA Yeesozze Olw’okaano Lw’okuvuganya ku Bwassentebe bwa disitulikiti y’e Mukono

Abasatu bano okuli Awunye, Lukooya ne Lugoloobi baakuvuganya mu kamyufu ka NRM okuvaako omu anaakwatira ekibiina bendera ng’oyo gwe bujja okwefuka ne ssentebe wa disitulikiti aliko kati, munna NUP, Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa, ekibiina kye bwe kinaaba gwe kizzeemu okuwa kkaadi okukikiikirira mu lw’okaano luno. Amaziga Mu Kusabira Ddayirekita W’essomero Abazigu B’emmundu Gwe Batta […]

Aba NUP Babuliddwa Ababakwatira Bendera ku Bifo By’Abaliko Obulemu

Kabanda yasomoozezza banna NUP naddala mu disitulikiti ey’e Mukono bakomye olugambo, entalo n’okwesongamu ennwe bwe baba banaasobola okutwala ekibiina mu maaso. Mesach Ssemakula Avuddemu Omwasi ku Mpalana ya Stecia ne Maurine Nantume Ng’ekiseera ky’okulonda ku bifo eby’obukiiko obw’enjawulo ku byalo kisemberedde, abakulembeze b’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) mu Greater Mukono bali mu kutambula sserebu […]

Agenda 2026: Ssebamala Alemeddeko, Yeerayiridde Okusuuza Mao Ekibiina Kya DP

Mu ngeri y’emu, Ssebamala era akakasizza nga bwe batadde eriiso ejjoji ku ssiga eddamuzi okulaba nga babawa obwenkanya ku musango  gwe baataddeyo nga beemulugunya  ku vvulugu eyeetobekedde mu ttabamiruka w’ekibiina. Kabaka Agenze Bweru Wa Ggwanga Kusisinkana Basawo Be-Katikkiro Bya Tonny Evans Ngabo Nga tusemberedde vvaawo mpitewo w’akalulu ka 2026, Bannakibiina kya Democratic Party (DP) ebyavudde […]

Hajji Abdul Kiyimba Bamuwujjizza Akalulu mu NRM e Wakiso N’enkoona N’enywa

Mbu bakira asaba oba kisoboka ettaka limumire naye nga buteerere! Okulonda kuno kwabadde Ku WAKISSHA e Wakiso ku Lwokutaano. Hajji Kiyimba yakkirizza okuwangulwa era bw’atyo n’asaba munne eyawangudde okutambuza emirimu gy’ekibiina obulungi. Vvulugu mu Kulonda Kwa NRM e Mukono, Abadde Ssentebe Ssebaggala Adduse mu Kalulu Bya Tonny Evans Ngabo |Wakiso | Kyaggwe TV | Hajji Abdul […]

Okulonda Kwa NRM e Mukono Kukyagaanye Okutandika

Ssebaggala era agamba nti ayagala aweebwe n’olukalala lw’abalonzi bonna naye yeekenneenye abagenda okulonda nga kino kirina kukolebwa ng’okulonda tekunnatandika. Police Chief Nixon Agasirwe Arrested, Linked to Joan Kagezi’s Murder Wadde ng’eby’okwerinda binywezeddwa ku kifo ewagenda okulondera aba NRM mu disitulikiti y’e Mukono, okuli abasirikale ba poliisi n’ab’eggye lya UPDF, abateekateeka okulonda bakyalemeddwa okutandika okulonda kuno […]

error: Content is protected !!