Mu ngeri y’emu, Ssebamala era akakasizza nga bwe batadde eriiso ejjoji ku ssiga eddamuzi okulaba nga babawa obwenkanya ku musango gwe baataddeyo nga beemulugunya ku vvulugu eyeetobekedde mu ttabamiruka w’ekibiina.
Kabaka Agenze Bweru Wa Ggwanga Kusisinkana Basawo Be-Katikkiro
Bya Tonny Evans Ngabo
Nga tusemberedde vvaawo mpitewo w’akalulu ka 2026, Bannakibiina kya Democratic Party (DP) ebyavudde mu kulonda kw’ekibiina okwabadde e Mbarara bakyabirojja n’abamu okubiwanda olulusu nga bagamba nti obubbi bbw’obululu obwayoleseddwa Norbert Mao tebulabikangako.
Bano nga bali mu nkambi ya Ying. Richard Ssebamala omu ku baali beegwanyiza obwa ssenkaggale ne balemesebwa balayidde nti okufa n’obutanyagwa baakweddiza obuyinza bw’ekibiina bwe bagamba nti bwawambiddwa abakulembeze ab’olubatu nga bayambibwako gavumenti ya NRM.
Bano bagamba nti ekimala kimala balina okukomyawo ennonno z’ekibiina nga bayita mu kkampeyini gye batuumye Make DP Great Again nga baakutaalaga ebitundu by’eggwanga byonna okusobola okukomyawo obuganzi mu kibiina.
Ssentebe W’Abasiraamu Asabye Museveni Ayingire mu Nsonga za Mufti Mubajje Okweremeza ku Ntebe
Ssebamala, nga ye mubaka wa palamenti owa Bukoto Central era nga ye yabadde avuganya ku bwa ssenkaggale bwa DP wabula n’alemesebwa asinzidde mu maka ge agasangibwa e Ssenge mu disitulikiti y’e Wakiso n’agamba nti mpaawo ayinza kubalemesa kweddiza buyinza bwa DP ng’era kaweefube ono wakutandika mbagirawo.
Mu ngeri y’emu, Ssebamala era akakasizza nga bwe batadde eriiso ejjoji ku ssiga eddamuzi okulaba nga babawa obwenkanya ku musango gwe baataddeyo nga beemulugunya ku vvulugu eyeetobekedde mu ttabamiruka w’ekibiina.
Ate bbo ba musaayi muto ab’ekibiina kya DP nga bakulembeddwa eyali ssentebe wa UYD Ismail Kirya basabye bannaabwe bonna okubeegattako banunule ekibiina kyabwe kubanga bye bazzenga bavumirira gamba ng’obubi bw’obululu kati nabwo mu DP bwakoleddwa misana ttuku ng’esi eraba.
Lukumbuka Robert Brians ng’ono ye mwogezi w’ekisinde kya Make DP Great Again agamba nti mu kiseera kino bannakibiina abagenda okwesimbawo tebasanye kweralikirira wabula baakufuna empapula ezibakakasa okuva kubukulembeze bwa disitulikiti basobole okuvuganya.
NUP Loses Five MPs to Other Political Parties, Mpuuga, Bwanika, Twaha Kagabo Inclusive