Mu Kifo Ky’okubinika Abasuubuzi Omusolo Omungi, N’ente Muzisolozeeko Omusolo-Speaker Among

Sipiika wa palamenti, Anita Annet Among avudde mu mbeera n’atabukira ab’ekitongole ekiwooza ky’omusolo ne gavumenti okutwalira awamu olw’okubinika abasuubuzi omusolo omunene ogubatuuse ne mu bulago nga ne bwe bavaayo ne balaajana tebakkiriza kubawuliriza. Among w’aviiriddeyo ng’abasuubuzi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga bakulemberwamu bannaabwe ab’e Kampala bagenda mu wiiki nnamba nga baggadde amaduuka tebakyakola mu ngeri […]

Poliisi Y’e Mukono Eggalidde Munnansi W’e Jamaica Eyaloopye Abaamubbidde ku Star Gardens

Poliisi y’e Mukono yeefuulidde munnansi wa Jamaica bwe yaddukiddeeyo okuloopa omusango gw’okumubbako ssente ne ttiketi y’ennyonyi mu kifo ekisanyukirwamu wabula ate abasirikale ne baggaliramu ye. Audrey Williams (29) enzaalwa y’e Jamaica ng’agamba nti abeera Canada ye yeekubidde enduulu ng’ayagala okuyambibwa olw’abasirikale ku poliisi e Mukono okumwefuulira ne batamuyamba bwe yagenzeeeyo nga bamubbyeko ensimbi ezisoba mu […]

Omuwala Eyalimba Nkubakyeyo Olubuto Abbye Omulambo Gw’omwana N’agutwalira Bazadde B’omulenzi ne Baguziika!

BYA ABU BATUUSA Aba ffamire ya nkubakyeyo basanze akaseera akazibu omuwala eyeeyise mukyala wa mutabani waabwe ali ku kyeyo e Dubai bw’abatwalidde omulambo ng’agamba nti mutabani waabwe yamuleka n’olubuto era n’abasaba baziike omulambo gw’omwana omuwere guno. Wabula oluvannyuma kizuuse ng’ono yali asiba kiwaani kuliirako ssente za nkubakyeyo ng’amugamba nga bw’ali olubuto naye nga tali. Kitegeerekese […]

Ssekiboobo Boogere N’abamyukabe Balagiddwa Okuwaayo Woofiisi ku Mmande

Abadde omwami wa Kabaka ow’essaza ly’e Kyaggwe, Elijah Boogere Lubanga Mulembya oluvannyuma lwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Mutebi II okusiima n’amuwummuza ku bukulu obwo, alagiddwa okweteekateeka aweeyo woofiisi eri Ssekiboobo omuggya, Vincent Matovu. Wadde ng’ebbaluwa eragira abadde Ssekiboobo okwetegeka n’abamyukabe okuli asooka Kato Matovu n’ow’okubiri Kanakulya Luswata teriiko nnaku za mwezi ddi lwe yawandiikiddwa ng’eno era […]

Kibuyaga Agoyezza Ebyalo e Buvuma-Asudde Amayumba N’okugoya Ebirime

Nnamutikwa w’enkuba eyafudembye mu kiro ng’ajjuddemu kibuyaga amanyiddwa ng’ensoke n’omuzira agoyezza ebyalo munaana ebisangibwa mu ggombolola y’e Buwooya mu disitulikiti y’e Buvuma mu bizinga. Abamu ku batuuze abakoseddwa okuli Edmond Kakunguru, Victoria Logose n’abalala batunnyonnyodde engeri gye baakoseddwamu okuli amayumba agaabambuseeko obusolya, ebirime omuli ebitooke, muwogo, lumonde n’omuceere kibuyaga bye yagoyezza. Logose atulambuzza engeri amazzi […]

NEMA Emenye Ekkanisa Eyazimbibwa mu Lutobazzi e Seeta-Abalokole Bawanda Muliro

Ekitongole kya National Environment Management Authority (NEMA) ekivunaayizibwa ku ntobazzi mu ggwanga nga kiri wamu ne poliisi y’obutonde bw’ensi bayungudde abasirikale abawanvu n’abampi okubawa obukuumi nga bamenya ekkanisa egambibwa okuba nga yazimbibwa mu lutobazzi. Ekkanisa ya Blood of Jesus Ministries International yamenyeddwa n’esigala ku ttaka n’ebintu ebirala omuli kaabuyonjo, ennyumba zibadde zisulamu abaweereza mu kkanisa […]

Kabaka Awummuzza Ssekiboobo e Kyaggwe N’amusikiza Nnannyini Masomero ga Our Lady Vincent Matovu

Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II akoze enkyukakyuka mu baami abamulamulirako amasaza ag’enjawulo mw’asuulidde abamu n’abasikiza abaggya ate abalala ne basigalawo. Mu bamu abasuuliddwa mwe muli Ssekiboobo atwala essaza ly’e Kyaggwe, Elijah Boogere Lubanga Mulembya ng’ono asikiziddwa abadde omwami w’eggombolola ya Mituba IV Kawuga, Vincent Matovu, ng’ono ye nannyini masomero ga Our Lady S.S […]

Sheikh Kanyike Alabudde Abasiraamu Ababbirira Omwenge

BYA TONNY EVANS NGABO Abaddu ba Allah mu Munisipaali ya Makindye Ssaabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso bakungaanidde ku Masjid Musa Kanaaba okusaala Iddi Al-Fitr olunaku lwa leero. Bw’abadde akulembeddemu okusaala kuno, Sheikh Yasin Kanyike nga y’akulira eby’enjigiriza mu disisitulikiti y’e Wakiso ku ludda lw’enzikiriza y’Ekiyisiraamu yeekokkodde ebikolwa  ebikolebwa abamu ku bakkiriza nga bityoboola  ekitiibwa ky’Obusiraamu […]

Abasiraamu Bajjumbidde Okusaala Iddi e Kyebando

BYA ABU BATUUSA Abasiraamu bakedde mu bungi okwetaba mu kusaala Iddi ku muzikiti gwa Masjid Centre e Kyebando mu disitulikiti y’e Wakiso. Sheikh Abubakali Sserunkuuma okuva e Nakasero y’akulembeddemu okusaala ng’akuutidde Abasiraamu okwewala amazambi omuli n’amasitaani. Okusinziira ku beetabye mu kusaala kuno, bagambye nti Abasiraamu bakujjumbidde nnyo ekitatera kubeerawo. Okusaala kutandise ku ssaawa ssatu ez’oku makya […]

error: Content is protected !!