Sheikh Kanyike Alabudde Abasiraamu Ababbirira Omwenge

BYA TONNY EVANS NGABO Abaddu ba Allah mu Munisipaali ya Makindye Ssaabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso bakungaanidde ku Masjid Musa Kanaaba okusaala Iddi Al-Fitr olunaku lwa leero. Bw’abadde akulembeddemu okusaala kuno, Sheikh Yasin Kanyike nga y’akulira eby’enjigiriza mu disisitulikiti y’e Wakiso ku ludda lw’enzikiriza y’Ekiyisiraamu yeekokkodde ebikolwa  ebikolebwa abamu ku bakkiriza nga bityoboola  ekitiibwa ky’Obusiraamu […]

Abasiraamu Bajjumbidde Okusaala Iddi e Kyebando

BYA ABU BATUUSA Abasiraamu bakedde mu bungi okwetaba mu kusaala Iddi ku muzikiti gwa Masjid Centre e Kyebando mu disitulikiti y’e Wakiso. Sheikh Abubakali Sserunkuuma okuva e Nakasero y’akulembeddemu okusaala ng’akuutidde Abasiraamu okwewala amazambi omuli n’amasitaani. Okusinziira ku beetabye mu kusaala kuno, bagambye nti Abasiraamu bakujjumbidde nnyo ekitatera kubeerawo. Okusaala kutandise ku ssaawa ssatu ez’oku makya […]

Akavuyo mu Kusaala Iddi e Mukono-Abasiraamu Beekandazze

Okusaala Iddi e Mukono ku muzikiti omukulu ogwa Mukono Central Mosque kabuze kata kuyiike, Abasiraamu bwe bavudde mu mbeera ne beekandagga nga bawakanya abakulembeze okulemererwa okukulemberamu okusaala nga bakafudde kadaala ka byabufuzi. Okusaala kuno okwabadde kutegekeddwa ku ssaawa ssatu ez’okumakya, zibadde zoolekera ssaawa nnya nga tekunnatandika ng’abakulembeze basimbizza layini bannabyabufuzi n’abagenyi abalala abalindiridde okwogera kino […]

Omubaka Medard Sseggona Asiibuludde Abasiraamu

BYA ABU BATUUSA Omubaka wa Busiro East Medard Ssegona asiibuludde Abasiramu ku muzikiti gwa Salama mu Nsumbi-Kyebando mu disitulikiti y’e Wakiso. Ssegona obubaka bw’okusiibulula Abasiraamu yabuwadde kkansala Twaha Ssekamatte. Abasiramu baakulembeddwa Sheikh Hamuzah Buluhani Mukiibi ng’ono ye Imam w’omuzikiti guno yasiimye nyo omubaka Ssegona olw’okubasiibululanga buli mwaka. Kkansala Twaha Ssekamatte alambuludde ebintu ebimutikkiddwa omubaka Sseggona […]

Poliisi Ekubye Amasasi Abadde Akulira Akabinja K’ababbi e Nansana

BYA ABU BATUUSA Omusajja abadde amaze ebbanga nga y’akulira akabinja k’abazigu abasuza abatuuze mu bitundu by’e Nansana n’ebyalo ebirinanyeewo ku tebuukye olw’obubbi poliisi emukubye amasasi agamuttiddewo mu kikwekweto. Attiddwa ategeerekeseeko lya Pius ng’ono kigambibwa nti ng’ali ne babbi banne babadde babba pikipiki n’okukuba ababodaboda obuyondo n’abamu ne babatta, babadde bamenya amaduuka n’amayumba ne babba n’okutuusa […]

Omwana Omuyimbi Gravity Gwe Yazuula e Buvuma Omubaka Migadde Amutaddemu Ssente

Mu buufu obw’okutumbula ebitone bya bamusaayi muto, Omubaka wa palamenti ow’ebizinga by’e Buvuma Robert Migadde Ndugwa ayiye omusimbi mu mwana Jesse Musubo omuyimbi era omuzinyi. Omubaka Migadde agulidde musaayimuto Jesse ennyimba bbiri ezaawandiikiddwa omuwandiisi ow’erinnya abasinga gwe bamanyi nga 14 K Bwongo n’amusasulira ne studio ey’erinnya mu Kampala n’abiteekamu engatto n’agenda alikoodinga ennyimba ze. Omubaka […]

Bp. Kagodo Akoze Enkyukakyuka mu Basumba-Ven. Mesach Eyalemagana ne Bp. Bukomeko e Mityana Amuwadde Obusaabadinkoni

Omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo akoze enkyukakyuka mu basumba mu bulabirizi n’ajjuza ekifo ky’abadde Ssaabadinkoni w’e Ndeeba eyasuumuse n’afuuka omulabirizi w’e Luweero Bp. Wilson Kisekka. Ven. David Ssekimpi nga y’abadde Ssaabadinkoni w’e Bbaale yatwaliddwa okubeera Ssaabadinkoni w’e Ndeeba ng’azze mu bigere bya Bp. Kisekka, ng’ono yatuukiddwa ng’omulabirizi w’e Luweero omwezi oguwedde ng’adda mu bigere […]

Abazadde Bazinzeeko Ddayirekita Wa St. Augustine Schools e Nakifuma Olw’ebigezo by’aba S.4 UNEB bye Yakwata

Abazadde b’abayizi abaatulira ebigezo byabwe ebya S.4 ku ssomero lya St. Augustine Senior Secondary School e Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono bazinzeeko essomero ne balumba woofiisi ya ddayirekita ne bagasimbagana naye ng’entabwe eva ku bibuuzo by’abaana baabwe ebyakwatibwa UNEB olw’essomero lino okwenyigira mu kukoppa. Dr. Martin Bbuye, ddayirekita w’amasomero ga St. Augustin Schools e Nakifuma […]

Abakulembeze e Wakiso Basabye Pulezidenti Museveni Okuwuliriza Okusaba Kw’abantu ku Ky’abantu Abaasibibwa Olw’eby’obufuzi

Abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuviira ddala mu kulonda okwaliwo mu mwaka gwa 2021 bazzenga basaba omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni okuyimbula abantu bonna abaasibibwa olw’eby’obufuzi. Wabula nga bano bakulungudde mu makomera emyaka egisoba mw’esatu nga n’abantu baabwe babonaabonaabona ebitagambika omuli abaana abaava mu masomero nga n’abamu eky’okulya kibeekubya mpi, okusaba kwabwe Pulezidenti Museveni ne gye […]

Abawuliriza ba Radio Dunamis Badduukiridde Bamaama Abali Embuto ne Bannakawere

Abawuliriza ba Radio Dunamis FM esangibwa mu kibuga Mukono nga bayita mu kibiina mwe beegattira ekya Strong Signal badduukiridde abakazi abali embuto n’abo abamaze okuzaala ku ddwaliro lya Mukono General Hospital n’ebikozesebwa okusobola okubayamba  okuyita mu mbeera eno obulungi. Bano nga bakulembeddwamu Ssaava Stephen Mutebi Junior akola pulogulaamu y’Ensi mu Kattu ku Dunamis Radio badduukiridde […]

error: Content is protected !!