Dr. Chapman, Omuzungu Ajjanjabye Amannyo mu Mengo Hospital Emyaka 45 Asiibudde

0 minutes, 36 seconds Read

Obwakabaka bwa Buganda busiimye emirimu gya Dr. Ken Chapman Kigozi Omuzungu abadde omusawo w’amannyo okumala emyaka 45 mu ddwaliro lya Mengo.

Katikkiro Charles Peter Mayiga bw’abadde asisinkanye Dr. Chapman n’abakulu okuva mu ddwaaliro abakedde Embuga olwa leero, amwebazizza olw’okutuusa obujjanjabi ate n’okutendeka abantu mu nsonga z’amannyo. Ono era amwebazizza olw’okwagala Obuwangwa bwa Buganda n’atuuka n’okuyiga olulimi oluganda n’afuna n’erinnya Kigozi era ne yenyumiriza mu Kika ky’Effumbe.

Kamalabyonna era yebazizza ab’eddwaliro lya Mengo olw’okusalawo okuzimba eddwaaliro ly’amannyo erigenda okubbulwa mu Dr. Ken Chapman ky’agambye nti kabonero akongera okulaga omulimu omukulu gw’akoze ebbanga ly’amaze mu Uganda.

Ye Dr. Chapman yeyanzizza Kabaka ne Gavumenti olw’omukisa ogwamuweebwa okuweereza abantu ba Buganda, era agamba nti newankubadde addayo mu America, naye Buganda ne Uganda bijja kumusigala ku mwoyo.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!