Abantu abasoba mu 400 be baafunye obujjanjabi obw’obwereere mu ggombolola ly’e Seeta-Namuganga mu disitulikiti y’e Mukono nga bwabaweereddwa eddwaliro lya St. Francis Naggalama.
Abalwadde okuva mu bitundu by’eggombolola lino eby’enjawulo baakungaanidde ku ssomero lya Namuganga Church of Uganda P/S nga bajjanjabiddwa ebirwadde eby’enjwulo omuli emisujja, amaaso, okukebera n’okukuula amannyo, ppuleesa, ssukaali, okukebera omusaayi n’ebirwadde ebirala bingi.
Omukazi Eyayiira Maama ne Muwalawe Asidi Asindikiddwa mu Kkomera
Dr. Allan Ssentongo, nga y’amyuka akulira eddwaliro ly’e Naggalama yagambye nti mu bumu ku buvunaanyizibwa bw’okuyamba ku bantu abatasobola kufuna bujjanjabi wadde nga babwetaaga, buli mwaka bategeka ensiisira z’eby’obulamu mwe baweera abantu nga bano obujjanjabi obw’obwereere.
Dr. Ssentongo yagambye nti okusingira ddala abakadde n’abantu abatalina mwasirizi baganyulwa nnyo mu nteekateeka eno olw’obutaba na buyambi bwa nsimbi zibatwala mu malwaliro kujjanjabibwa ne bwe baba ebirwadde bibaluma.
“Olw’okuba eggombolola y’e Seeta-Namuganga y’emu ku zisinga okuba ewala, ng’eri ku nsalo ne disitulikiti y’e Luweero n’e Kayunga, abantu basanga obuzibu okufuna empeereza ez’enjawulo omuli n’obujjanjabi, ng’eddwaliro eriri ku musingi gwa klezia, y’ensonga lwaki tuvaayo okusitula abasawo mu bungi ne tubaleeta okusanga abalwadde bano ne tubawa obujjanjabi ku bwereere,” Dr. Ssentongo bwe yannyonnyodde.
Ate akulira ekitongole ky’amawulire mu ddwaliro, Evelyne Namuddu yagambye nti waliwo obwetaavu bwamaanyi obw’obuweereza bw’eby’obulamu eri abantu mu magombolola ageesudde mu bitundu ebiri ewala n’agamba nti baafunye abantu bangi ababadde n’endwadde z’amannyo okuli n’agaakuuliddwamu ng’ebiwuka byagalya, abalwadde b’amaaso nabo baabadde bangi ng’endwadde zino olw’okubeera ewala, abazirina tebakolebwako kuba amalwaliro agasangibwa mu byalo tegazikolako.
Mu bamu ku bajjanjabiddwa mwe muli n’omukyala Yulita Nalugo ng’ono obunene y’emu ku ndwadde ezimuboyaanya nga takyesobola. Ono yatunnyonnyodde ng’agamba nti aweza kkiro 153 nga wadde olumu asiiba n’enjala, ggwo omubiri gweyongera bweyongezi ekimubuzizzaako emirembe.