Bakifeesi nga bagudde ku Marvin Ssaava bamukuba n'okumukasuka ebweru. Ono abadde avuganya ku bwa ssentebe bw'abavubuka. Mu katono, Nambooze n'ab'eby'okwerinda ku woofiisi z'akakiiko k'eby'okulonda e Mukono wabweru.

Effujjo mu Kulonda Kw’abavubuka e Mukono-Aba NRM Bapangisizza Bakifeesi ne Bakuba Aba NUP

3 minutes, 14 seconds Read

Effujjo lino likulembeddwa akulira ebikwekweto ku poliisi e Mukono, ASP Juma Sabira, ng’ono abadde akolera wamu n’abasirikale be ssaako abavubuka ba kifeesi wadde ng’ate bbo abasirikale b’amagye wadde babaddewo, babadde batunula butunuzi.

Busoga Christians Reject Clergy Fronted for Bishop’s Seat, Petition Archbishop

Ssekirya akuliddemu okulonda ng’alangirira ebivudde mu kulonda.

Okulonda kw’abavubuka mu munisipaali y’e Mukono kubaddemu effujjo eritagambika banna NRM bwe bakoze olukujjukujju ne bakwatagana n’abakuluddemu okulonda ab’akakiiko k’eby’okulonda ne bakyusa ekifo omubadde mulina okulondebwa ne bakuzza mu kifo omuli enkambi y’amagye.

Okulonda kuno kukyusiddwa okuva ku kitebe kya munisipaali y’e Mukono ne kuzzibwa ku Youth Centre mu kifo omuli enkambi y’amagye ng’eno aba NRM gye bagambibwa okufuna abavubuka ba kifeesi ababadde bakwese amaaso nga be bakozesezza okukola effujjo omuli okukuba n’okulumya aba NUP ababadde beesibyewo n’abalonzi ne babaleka nga batonnya musaayi.

Juma Sabira, akulira ebikwekweto bya poliisi e Mukono.

Effujjo lino likulembeddwa akulira ebikwekweto ku poliisi e Mukono, ASP Juma Sabira, ng’ono abadde akolera wamu n’abasirikale be ssaako abavubuka ba kifeesi wadde ng’ate bbo abasirikale b’amagye wadde babaddewo, babadde batunula butunuzi.

Abavubuka ba NUP bagenze okutuuka ku Youth Centre okulonda gye kwazziddwa ku ssaawa bbiri ez’oku makya olwo ba kifeesi nga baasazeeko dda ekifo ne babasibira ebweru nga ne gye biggweredde ng’omu ku bakulembeze bano abadde ayagala ekifo kyobwa ssentebe, Marvin Saava, nga bamusitudde ne bamukuba bubi nnyo ne bamuggyamu n’enjala ng’era ono ebigere avuddewo nga biyiika musaayi.

Akuliddemu okulonda mu kifo kino, Peter Ssekirya abadde amyukibwa Jimmy Nteza ng’ono y’akulira ebigenda ku mpewo ku Leediyo y’obulabirizi bw’e Mukono nga bano bavumiriddwa olw’okukkiriza okwenyigira mu mivuyo.

Abayiseemu nga bonna ba NRM kuliko; ssentebe, Edrine Kavuma, omumyukawe, Daniel Kyazze, ow’amawulire, Hassan Asuman Kaggwa, ow’abavubuka abawala, Susan Racheal Nakasi, atwala ensonga z’abayizi, Alex Magala, atwala ensonga z’abakozi, Phionah Namulondo, ow’eby’emizannyo n’eby’obuwangwa, Jonathan Ssebulime, n’ow’eby’ensimbi, Gillian Muwanga.

14yr-Old Boy Dies in Church Custody, Priest on the Run

Okulonda kuno kugenze okubeerawo, ng’ekibiina kya NUP kyayisaamu abavubuka 45 mu kulonda kw’emitendera gy’emiruka olwo yo NRM n’eyisaamu 36.

Ssekirya bino ebibaddewo n’aba NUP obutakkirzibwa kulonda tekumulobedde kulangirira bawanguzi ng’ebifo byonna biwanguddwa ba NRM b’alangiridde ku buwanguzi nga tebavuganyiziddwa.

Aba NUP oluvudde wano, beegattiddwako abakulembeze baabwe okuli omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke, ssentebe wa Mukono Central division, Robert Peter Kabanda n’owa Goma divizoni, Herbert Humphry Kyasa ne bagenda bagumba ku kitebe ky’akakiiko k’eby’okulonda e Mukono ng’eno abasirikale era nga bakulembeddwamu akulira poliisi y’e Mukono Majidu Arituha n’akulira ebikwekweto Juma Sabira babaggalidde ebweru okumala ebbanga lya ssaawa nga bbiri.

Abamu ku bavubuka bakifeesi abaayiiriddwa okukuba aba NUP.

Oluvannyuma, bano bakkiriziganyizza ne bakkirizaako abakulembeze babiri n’abavuganyizza basatu ne bayingira ne beevumba akafubo n’akulira okulonda e Mukono, Mark Muganzi Mayanja.

Bwe bavuddeyo oluvannyuma lw’essaawa ng’emu, Nambooze ategeezezza nti bakaanyizza bateekeyo okwemulugunya mu buwandiike oluvannyuma lw’akuliddemu okulonda, Robert Ssekirya naye abadde mu kafubo kano n’akkiriza ng’embeera bw’emusukkiriddeko oluvannyuma lw’okuwambibwa ab’eby’okwerinda ne bakifeesi abaapangisiddwa aba NRM.

Nambooze n’abakulembeze ba NUP nga babasibidde ebweru wa woofiisi za NRM e Mukono.

Nambooze asabye akulira okulonda e Mukono, Mark Muganzi okuggya Ssekirya mu by’okulondesa kuba alabika ng’aliko b’aweereza aba NRM ng’omuntu ekika kino tagwanidde kukwasibwa buvunaaniyizibwa bunene nga buno.

“Ekikoleddwa poliisi olwa leero kitumazeemu amaanyi, eringa egamba nti buli yeesimbyewo alina okwekolera ku by’okwerinda ng’aba NRM bwe bakoze leero. Naffe tulina obusobozi obwo, era bwe kiba bwe kityo, batutegeeze mu butongole,” Nambooze bw’ategeezezza.

Abamu ku banna NUP nga bagumbye ku woofiisi z’akakiiko k’eb’okulonda e Mukono.

Nurses Threaten to Lay Down Tools Over Unacceptable Professional Welfare Issues

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!