
BYA TONNY EVANS NGABO | WAKISO | KYAGGWE TV | Bwanamukulu w’ekigo kya Klezia ekya St. Jude Catholic Parish e Wakiso, Fr. Ronnie Mubiru asabye abakristu mu ggwanga okwefumiitiriza ku bukulu bw’okutambuza ekkubo ly’omusalaaba ng’akabonero ak’okukomya okunyigiriza bannaabwe.

Fr. Mubiru asinzidde mu kutambuza kkubo ly’omusaalaba mu kibuga ky’e Wakiso okwetabiddwamu ebikumi n’ebikumi by’Abakristu okuva mu bisomesa ebikola ekigo kino n’akubiriza Bannayuganda okwekuba mu kifuba ku bikolwa eby’ettima bye bakola bannaabwe naddala obubbi, ettemu, n’okugobaganya abanaku ku ttaka.
Mu ngeri y’emu era alabudde abantu n’okusingira ddala abagoberezi ba Yezu abayitirizza obutassa kitiibwa n’okujereegereza ensonga y’okutambuza ekubo ly’omusaalaba nga bakitwala nga eky’olubalaato n’abalabula nti kino bakola kikyamu.