Enkima Zikwasizza Abayizi ba Makerere University

0 minutes, 36 seconds Read

Poliisi ekutte n’eggalira abayizi babiri abasomera ku Makerere University ng’entabwe evudde ku kusangibwa nga bakukusa enkima okuzifulumya ebweru w’eggwanga nga tebagoberedde mateeka.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, abakwate kuliko; Lubega Frederick n’omuvubuka Ankunda Isborn.

Enanga asinzidde ku kitebe kya poliisi ekikulu e Naguru ategeezezza nti ababiri bano baakwatiddwa nga balina enkima 22 ze baabadde bapanze mu bibookisi okuzoolekeza eggwanga lya Congo.

Okusinziira ku Enanga, we baabakwatidde ng’enkima musanvuzaafudde dda nga wasigaddewo 15 era nga zaabadde za bika eby’enjawulo.

Ategeezezza nga bano bwe bagenda okuvunaanibwa emisango egy’enjawulo egyekuusa ku kutyoboola eddembe ly’ebisolo.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!