Gavumenti Eddizza Radio ya Kabaka Eya CBS Layisinsi Eyali Yagiggyibwako

0 minutes, 47 seconds Read

Kyaddaaki gavumenti eddizza Radio ya Kabaka CBS layisinsi yaayo gye yali yayimiriza emyaka mingi egiyise okuva mu mwaka gwa 2009.

Minister w’eby’amawulire ne ICT, Chris Baryomusi y’akwasizza Ssenkulu wa CBS Michael Kawooya Mwebe lalyisinsi eno. Omukolo guno gubadde ku kitebe kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya ekya UCC ekisangibwa e Bugoloobi mu kibuga Kampala.

Radio ya CBS yaggyibwa ku mpewo mu mwaka gwa 2009 bwe waaliwo okwekalakaasa mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo ng’abantu bawakanya ekya gavumenti okusuulira eyali Katikkiro mu biseera ebyo John Batist Walusimbi emisanvu mu kkubo ku lutindo lwa Ssezibwa ne bamuziyiza okugenda mu ssaza lya Kabaka ery’e Bugerere.

Mu kuddizibwa ku mpewo nga wayiseewo ebbanga, gavumenti teyaddiza leediyo eno layisinsi nga n’okutuusa olwaleero abakulu kwe beefukuludde, CBS ebadde ekola naye nga terina layisinsi.

Leediyo ya CBS erimu emikutu ebiri okuli Ey’obujjajja, 88.8 FM n’ey’abavubuka ab’omulembe Omutebi, Emmanduso, 89.2 FM.

 

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!