Gavumenti Etongozza Okukola Oluguudo Lw’e Ssentema Olubadde Lussa Abatuuze Enfuufu

Disitulikiti y’e Wakiso kyaddaaki ettadde omukono ku ndaagano ne kkampuni y’Abachina eya CHONGQING INTERNATIONAL CONSTRUCTION CORPORATION (CICO) okukola oluguudo lwa Ssentema -Bukasa – Kakiri olumaze ebbanga nga lukaabya Bannayuganda abalukozesa olw’enfuufu ebadde esusse okubalwaza ebirwadde n’okubafiiriza bbizinensi.

Pulojekiti eno yaakuwemmenta obuwumbi bw’ensimbi za Uganda obusoba mu 66 mu nteekateeka evujjurirwa banka y’ensi yonna.

Akulira abakozi ba gavumenti mu disitulikiti y’e Wakiso, Alfred Malinga asinzidde mu nsisinkano eno etude ku kitebe kya disitulikiti n’awanjagira gavumenti okubataasa ku kizibu ky’emirimu egiweebwa ba kontulakita nga bano okutambula akasoobo.

Negligence Claims:  NUP’s MP Ndiwalana Escapes Lynching at a Funeral

Malinga mu kulambulula ategeezezza nti ezikibu baakizuula nga kiva wa soliciter general okulwawo okuyisa project mu budde ekiviiriddeko emirimu gya disitulikiti okwesiba nga mu kadde kano batubidde n’obuwumbi obusoba mu bubiri ku akawunti ezirina okukola ppulojekiti ez’enjawulo.

Minister omubeezi   owa Kampala n’emiriraano, Joseph Kabuye kyofatogabye bw’abadde ayogera oluvannyuma lw’okutongoza omulimu guno, ba kkontulakita aba CICO abawadde omwezi gumu okutandika omulimu guno.

Kyofatogabye ategeezezza nti we tunatuukira mu December wa 2025, asuubira omulimu okuba nga gutambulidde ddala.

 

“Njagala mutandikirewo okukola, kuba tusuubira nti nga bwe muli kkampuni ennene ate ey’ensi yonna, ensimbi n’ebyuma ebikola mubirina. N’olw’ekyo tetwetaaga ate kumala myezi nga temunnatandika mulimu. Nga bwe muwulidde, abantu baffe omulimu guno babadde bagulinze nnyo nga teri kyetaagisa kwongera kubalwisa,” bwe yategeezezza.

Mu ngeri y’emu, era Minisita Kyofatogabye akirizza nti wakyaliwo embeera y’okutambuza emirimu akasoobo mu woofiisi ya Solisita genero naye ensonga eno asuubizza nti bagende kugikolako mu bwangu ddala.

Amyuka ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Bettina Nantege asabye abatuuze oluguudo gye lugenda okwaniriza enkulakulana eno baleme kuleetawo mbeera ziremesa mirimu kutambula.

 

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!