Katikkiro Alabudde Bannabyabufuzi Ku By’obufuzi Ebitaliimu Buntubulamu

0 minutes, 48 seconds Read

“Eby’obufuzi ebitaliimu buntubulamu tebisobola kuzimba Uganda,” Katikkiro.

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga azzeemu okukubiriza bannabyafuzi okubeera abakkakkamu, okussiŋŋanamu ekitiibwa, okuwuliziganya n’okusonyiwagana nga lwe bajja okusobola okugatta ku ggwanga lyabwe omutindo, okugasa n’okuba ab’enkizo.

Bino bibadde mu bubaka Katikkiro Mayiga bw’atisse omumyuka we Owookubiri, Oweek. Robert Nsibirwa ku mukolo Oweek. Mathias Mpuuga kwe yeebalizza Katonda olw’ebyo by’amukoledde ogubadde ku Kitovu Sports Arena e Buddu.

Kamalabyonna ku lw’Obwakabaka yeebazizza Mpuuga olw’obuweereza bwe eri eggwanga lye Buganda n’ensi Uganda, naddala obuteegaana Nnamulondo ebbanga lyonna okuviira ddala ng’akyaweereza mu gavumenti ya Kabaka obutereevu ne bwe yagenda mu by’obufuzi.

Mukuuma Ddamula era atenderezza Mpuuga olw’okukumaakuma abavubuka mu kiseera we yabeerera Minisita omubeezi ow’abavubuka mu Buganda.

Oweek. Mpuuga nga ye Kkamisona wa palamenti ategeezezza nti ensonga enkulu ey’okutegeka okusaba kuno, kwe kwebaza Katonda olw’ebyo byamuyisizzaamu ne byamusobozesezza okuyiga mu bulamu bwe, era agamba kati ayongedde okuggumira, kubanga buli kimu akiyiseemu era essira kati waakuliteeka mu kuzimba obumu mu bantu n’okulwanirira entereeza mu ssemateeka w’eggwanga okulaba ng’agasa bannansi.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!